TOP

Tulakita ziyiikuula mirambo e Jinja

Added 17th January 2020

TULAKITA zaasiibye ziyiikuula amafunfugu okuggyayo emirambo gy’abaafi iridde mu kizimbe ekyagudde e Jinja.

 Ekimotoka ki weetiiye ekya UPDF nga kiyamba ku Poliisi n’abantu okunoonya emirambo egyabadde gikyawagamidde mu kalina eyagudde e Jinja

Ekimotoka ki weetiiye ekya UPDF nga kiyamba ku Poliisi n’abantu okunoonya emirambo egyabadde gikyawagamidde mu kalina eyagudde e Jinja

TULAKITA zaasiibye ziyiikuula amafunfugu okuggyayo emirambo gy'abaafiiridde mu kizimbe ekyagudde e Jinja.
 
Ku Lwokusatu akawungeezi, ekizimbe kya kalina ssatu ekibadde kinaatera okumalirizibwa kyagudde ne kiziika abakozi.
 
Kigambibwa nti kyabaddemu abakozi 38, kyokka 25 baabadde tebannamanyikako mayitire.
 
Kiyinzika okuba ng'abamu baasimattuse okufa ne badduka kiwalazima kyokka ng'abalala kyabadde kiteeberezebwa nti baafi iriddemu.
 
Ekizimbe ekyagudde kiri ku luguudo School Lane ekitunudde mu katale ka Madhvan e Jinja.
 
Poloti eyo yali ya musuubuzi w'e Jinja ew'eggwanga ly'Abasomali, Yusuf Hared n'agiguza omukyala Omusomali.
 
 bazirakisa nga basitudde omulambo gwa enis uhoofa omu ku baafi iridde mu kizimbe ekyababuutikidde e inja Abazirakisa nga basitudde omulambo gwa Denis Muhoofa omu ku baafi iridde mu kizimbe ekyababuutikidde e Jinja.

 

 
Emirambo esatu gye gyasoose okuggyibwa mu kizimbe kino gattako abakozi 12 abaatuusiddwaako ebisago eby'amaanyi era bajjanjabirwa mu ddwaaliro e Jinja.
 
Omu ku baasimattuse okufi ira mu kizimbe ye Abubaker Balikoowa ow'e Buikwe. Agamba nti y'omu ku baabadde basiiga langi. Yakedde ku maliiri okuva e Buikwe n'ajja ku pikipiki.
 
Akola gwa kusiiga langi. Agamba nti nga tebannatandika kukola, abakozi bonna basooka kuwandiisibwa mu kitabo. Akulira eby'okuzimba ekizimbe kino Ronald Mukoova yabaddewo nga y'awandiisa abakozi.
 
Agamba nti yatunudde mu kitabo nga beewandiisizza abakozi 38. Agamba: Ku ssaawa nga 11 ez'olweggulo ku Lwokusatu, nnabadde munda mu kizimbe.
 
Nnawulidde ekizimbe kiyuuga ne ndowooza nti "musisi" yabadde ayita. Nnadduse okulinnya amadaala okudda ku mwaliiro gw'okusatu. Ekyaddiridde kizimbe kugwa ne kibuutikira abakozi.
 
Kyokka omuwendo gw'abakozi omutongole, abaabadde mu kizimbe tetwasobodde kugukakasa ne bannannyini kyo.
 
Yategeezeza nti abamu babadde bakola gwa kukuba pulasita ku mwaliiro ogw'okusatu n'ogw'okubiri.
 
"Ekizimbe bwe kyatandise okuyuuga, waayiseewo akaseera katono nnyo (eddakiika nga ssatu) ne kigwa.
 
Tulakita zaaleeteddwa okuyambako okusenda amafunfugu okuggyayo emirambo emirala.
 
Kwabaddeko tulakita ya UPDF, eya minisitule y'ebyenguudo n'endala ey'obwannannyini.
 
Omumyuka w'omuduumizzi wa Poliisi mu kitundu ky'e Kiira, Onesmus Mwesigwa ategeezeza ku Lwokuna nti UPDF, Poliisi ne bambega baakedde ku sayiti okwongera okukola omulimu ogw'okuyiikuula emirambo gy'abantu ababadde bakyawangamidde mu kizimbe.
 
Abaafudde kuliko; Denis Muhoofa ow'e Butaleja ne Joseph Isabirye ow'e Butagaya.
 
Omulambo omulala gwa muyizi wa S4 omu ku balindiridde ebigezo okukomawo.
 
Omubaka wa gavumenti e Jinja, Eric Sakwa yategeezezza nti abakozi baabadde 37 omulala owa 38 mukazi afumbira abakozi ebyokulya n'abibaguza.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...