TOP

'Muggya wange apangisizza abasajja ne bankuba

Added 17th January 2020

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu abaamuwadde obuyambi.

 Nakalembe

Nakalembe

Bya Stuart Yiga

AMALOBOOZI g'enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu abaamuwadde obuyambi.

Baagenze okumutuukako ng'ali mu bulumi obw'ekitalo, yenna akikijjana, asituka bw'addawo kyokka ng'ali bwereere! Byabaddewo ku Mmande.

Immaculate Nakalembe, omutuuze ku kyalo Bukaayo, mu disitulikiti y'e Buvuma alumiriza muggya we okupangisa abasajja basatu bamukube era nti olwamaze okumutuusaako obulabe mu Mabira, ne badduka.

Ssentebe w'ekyalo Nkaaga, mu muluka gw'e Buwoola - Najjembe, mu disitulikiti y'e Buikwe, Daniel Ssemakula Katende yategeezezza nti Nakalembe yasoose kulabibwa
omutuuze Kibirango n'amwekanga ng'alaba ali bukunya.

"Omutuuze omukyala yayanguye n'amufunira engoye n'amwambaza. Baayise poliisi eyamututte mu ddwaaliro e Kawolo," Katende bwe yategeezezza.

Eby'okuwambibwa ne bamutulugunyiza mu Mabira, Nakalembe yabyogedde azze engulu. Yagambye nti, "abasajja basatu nga bali ku boodabooda bantaayizza nga nva okukyalira baze Jonathan Kizza, omujaasi wa UPDF, akolera e Bujagaali mu disitulikiti y'e Jinja.

 amusisi maama wa akalembe Namusisi, maama wa Nakalembe.

 Nnina muggya wange abeera e Jinja era ono aludde ng'ankubira essimu ng'andaalika
okunkolako bwe simulekera musajja. Enkinkakasa nti muggya wange ye yabadde emabega wa bino byonna, bwe nabadde nva ewa baze ku Mmande, mwannyina
wa muggya wange kwe kujja n'abasajja abalala babiri ne bansalako mu bitundu by'e Njeru we nabadde nnindira takisi.


Bankubye ne bankwata okukkakkana nga bantuusizza mu Mabira. Mwannyina wa muggya wange yambuuzizza nti, "Gwe tokimanyi nti omusajja gw'obadde naye alina mukazi we? Lwaki tomwesonyiwa?"

Nakalembe yagasseeko nti ekyaddiridde kumwabulamu ngoye ne bongera okumukuba kyokka nga ne bw'alaajana teri ajja kumutaasa.

Yazirise era teyategedde basajja gye baabulidde. Okudda engulu nga yenna omubiri gumuluma, aliko enkwagulo.

Poliisi y'omu Mabira ensonga yazongeddeyo ku Poliisi enkulu etwala ekitundu kino e
Lugazi era ne baggulawo omusango gw'okugezaako okuwamba omuntu n'okumulumya ku fayiro nnamba SD:49/15/01/2020.

Maama wa Nakalembe, eyamusanze mu ddwaaliro ly'e Kawolo, Jessica Namusisi, olwalabye ku muwala we n'ayoza ku mmunye.

Yategeezezza nti babadde bamaze ennaku ssatu nga banoonya muwala we.

Nakalembe ajjanjabibwa mu ddwaaliro e Kawolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...