TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Added 19th January 2020

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

 Fr Musaala

Fr Musaala

SSAABASUMBA Lwanga akoze enkyukakyuka ez'amaanyi e Lubaga ne zitwaliramu n'abakulembeze ababadde baddukanya Essaza ekkulu erya Kampala. Mu nkyukakyuka zino asindise bannaddiini 8 mu luwummula ate mu kiseera kyekimu n'akomyawo Faaza Musaala ne Faaza Ssonko abaali baawummuzibwa nga bali ku bibonerezo Klezia bye yabawa.

Dr. Cyprian Kizito Lwanga yasoose kutegeeza nti naye agenda kubeerako mu luwummula nga lwesigamiziddwa ku ng'endo empanvu z'alina ezitandika omwezi guno.

Dr. Lwanga yasookedde Moroto gy'anaava agende e South Afrika omwezi ogujja era waakwetaba mu kutuuza Bp. Joseph Kizito Munnayuganda eyalondeddwa okubeera Omusumba w'Essaza ly'e Aliwal mu South Afrika.

Bw'anaavaayo waakugenda mu mawanga ga Bulaaya naddala e Germany, Italy, Roma, oluvannyuma agende e Yisirayiri, gy'aliva agende mu Amerika. Akulira eby'amawulire mu Ssaza Ekkulu erya Kampala Rev. Fr. Joseph Mukasa Nkeera yagambye nti Ssaabasumba mu ng'endo zino agenda kuba asisinkana Bafaaza abava mu Ssaza Ekkulu erya Kampala abaasindikibwa mu mawanga ago ku mirimu gy'eddiini.

Faaza Nkeera yagambye nti Ssaabasumba waakubeera mu ofi isi ennaku ezimu kyokka ezo zijja kuba ntono kubanga ebbanga eddene mu mwaka guno agenda kulimala mu kutambula ng'akola emirimu gy'eddiini egy'Essaza Ekkulu erya Kampala.

LWAKI BANNADDIINI 8 BASINDIKIDDWA MU LUWUMMULA

Bannaddiini munaana abasindikiddwa mu luwummula kuliko abadde Viika Genero w'Essaza Ekkulu erya Kampala Msgr. Charles Kasibante era ekifo kye kyaweereddwa Msgr. Gerald Kalumba abadde Bwannamukulu wa Klezia ya Yezu Kabaka.

Msgr. Kasibante y'abadde avunaanyizibwa ku malwaliro agali wansi wa Klezia mu Ssaza ly'e Kampala era kati obuvunaanyizibwa buno buweereddwa Msgr. Kalumba.

Msgr. Lawrence Ssemusu nga y'abadde Viika avunaanyizibwa ku by'enjigiriza mu Ssaza ly'e Kampala era nga y'atwala eby'eddiini (Chaplain) mu yunivaasite y'e Nakawa naye yasindikiddwa mu luwummula n'asikizibwa Rev. Fr. Dr. Dennis Kizito Ssebunya era ng'ono asigazza n'obuvunaanyizibwa bw'okukulira Vicariate y'e Mitalamaria gy'amaze ebbanga nga ye Bwanamukulu.

Mu nkyukakyuka zino ezikyasinze okubeera ez'amaanyi bukya Dr. Lwanga atuuzibwa nga Ssaabasumba nga September 30, 2006; ne Bwanamukulu wa Lubaga Rev. Fr. Joseph Mary Bbuye naye baamusindise mu luwummula, ekifo ne kiweebwa Rev. Fr. Achilles Mayanja abadde Bwanamukulu w'e Kansanga.

Ono bamwongeddeko obuvunaanyizibwa obulala obw'okumyuka atwala Vicariate era Episcopal Viika wa Kampala Vicariate.

Abalala abaasindikiddwa mu luwummula kuliko Fr. Atanansia Musajjakaawa abadde ayambako Msgr. Experito Magembe e Bukalango; kw'ossa Rev. Fr. Dr. Richard Ssajjabi abadde Bwanamukulu w'e Kibiri era omukwanaganya w'emirimu gy'obutume (Pastoral Coordinator) mu Ssaza Ekkulu erya Kampala. Abalala ye, Rev. Fr. David Ssempungu abadde aweereza mu Seminaaliyo, Rev. Fr. Boniface Lugoloobi ne Fr. Andrew Kato abadde akulira kkooti ya Klezia.

Bonna oluwummula lwe baasindikiddwaako terulina bbanga ggere kyokka Faaza Nkeera yagambye nti Ssaabasumba waakubatuma mu buvunaanyizibwa nga bw'anaaba alabye, oluvannyuma lw'oluwummula.

Kigambibwa nti abamu ku bano baali baasaba okuwummula oluvannyuma lw'okuweereza ebbanga eddene ate abamu nga batawaanyizibwamu ne mu by'obulamu; kyokka ku balala kigambibwa nti wabaddewo ebitatambula bulungi naddala mu nkwata y'eby'ensimbi era abamu nti kyatandikira ku ssente ezaakung'aanyizibwa mu kukyala kwa Paapa, Ssaabasumba nti n'afuna okwemulugunya ku omu ku bannaddiini abasindikiddwa ku luwummula nti teyazikwata bulungi nga bwe yali asuubirwa.

Kigambibwa nti enkwata y'ensonga z'ebyobufuzi kyandiba nga nakyo kyavuddeko okusindika abamu ku luwummula luno naddala mu mwaka guno ogugenda okubaamu kampeyini era abamu abaatunuuliddwa nga abalina oludda kwe beewunzikira ennyo ku byobufuzi, zeezimu ku nsonga ezoogerwako ezaavuddeko okubasindika mu luwummula nti era abagwa mu ttuluba lino kisuubirwa nti baakukomezebwawo ng'akalulu ka 2021 kamaze okuggwa.

Enkyukakyuka zino zaddiridde Ssaabasumba bye yayogedde mu kusaba kw'Olusooka omwaka ng'alaga obutali bumativu ku bannaddiini abava mu bitundu ebirala ne basoma mmisa mu bitundu ebitali byabwe era okusaba ne bakutegekera mu bifo ebitali bitongole ate nga Klezia zirina amasinzizo gaazo mu bifo ebyo.

Nti eyo basoloolezaayo akabbo mu ngeri etali nnambulukufu ABAWEEREDDWA EBIFO Mu balondeddwa kuliko Bacansala babiri Rev. Fr. Ronald James Walugembe [Cansala asooka] ne Rev. Fr. Henry Mubiru [Cansala owookubiri]. Rev. Fr. Dr. Joseph Sserugga akwanaganya eby'Obutume mu Ssaza.

Amyukibwa Joseph Ssebayigga. Abamyuka b'abatabaganya b'emirimu gy'Obatume kuliko Fr. Joseph Njala owa Mitalamalia era ono ali Ggoli. Faaza Jude Makanga alondeddwa kumyuka atwala Wakiso ate Fr. Gerald Mpanju alondeddwa kumyuka atwala Ntebe.

Fr. Banabus B. Mukiibi alondeddwa okukulira kkooti y'Essaza ng'aggyiddwa Ggaba mu Seminaliyo.

Fr. Joseph Ssenkaali alondeddwa okumyuka Fr. Mukiibi mu Kkooti y'Essaza ng'aggyiddwa Mutundwe ate omumyuka owookubiri mu kkooti y'Essaza ye Fr. Richard Mwebe. Fr. Joseph Ssebayigga alondeddwa okukola ng'akulira Bishop House e Nsambya ate Fr. John Bosco Ssetumba alondeddwa okukola ng'omuwandiisi w'ebyenjigiriza mu Ssaza lya Kampala era ono abadde Kyambogo nga ye Chaplain wa yunivaasite.

Mu nkyukakyuka zino, Ssaabasumba yakomezzaawo Faaza Anthony Musaala era nga yaweereddwa ebifo bibiri okuli eky'omumyuka wa Bwanamukulu w'e Lubaga ne bagattako n'ekifo kya Chaplain wa Uganda Martyrs University Lubaga.

Musaala baamukomezzaawo lumu ne Rev. Fr. Dr. Deo Ssonko era nga bombi baali baawummuzibwa mu kiseera kyekimu mu March 2013. Bonna baali beewaggudde ku Klezia ne batuuka n'okukwatagana ne Fr. Jacinto Kibuuka eyatandika essinzizo erirye kyokka beetonda mu lwatu mu May 2017 ne bakomezebwawo mu Klezia era okuva olwo Ssaabasumba yalagira babakolemu omulimu mu by'omwoyo okwongera okunnyikira mu nkola za Klezia.

Musaala okuwummuzibwa yali amaze okuwandiika ekiwandiiko ewa Ssaabasumba mwe yateeka ebirowoozo ng'asaba Klezia erowooze ku ky'okuwa ebbeetu Abasosodooti abaagala okuwasa bakikole, ng'emu ku ngeri y'okulwanyisaamu emize egy'obulabe omuli ebisiyaga n'okuzaala abaana mu nkukutu ate oluvannyuma ne babeegaana.

Musaala eyali ku Klezia ya St. Matia Mulumba e Kampalamukadde, yasooka kusindikibwa mu kigo ky'e Mitala Maria wabula n'atagendayo era ekyaddirira kumuwummuza.

Okuva mu 2017, Musaala abadde alabwako e Lubaga mu kwongera okumuteekateeka okutuusa lwe bamukomezzaawo ate ng'aweereddwa ebifo eby'amaanyi.

Rev Fr. Dr. Deo Ssonko ye yalondeddwa okukulira pulojeki z'Essaza n'ebibiina ebiri mu Ssaza Ekkulu erya Kampala. Faaza Nkeera yagambye nti enkyukakyuka zino zitandika okukola nga February 1, 2020

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...