TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Added 19th January 2020

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

KAJJANSI United ekyusiza ekisaawe mu kaweefube gweriko okuwandula SC Vipers mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup ekya sizoni eno.
 
Kajjansi yakuttunka ne Vipers  ku Lwokusatu(nga 22 January 2020) mu kisaawe e Wankulukuku oluvanyuma lw'abakungu baayo okukyusa ekisaawe we babadde bakyaliza ttiimu za Ligyioni  (ekya Clays e Kajjansi)  olwa kye baayise okwewala okutataganyizibwa abaddukanya empaka zino(FUFA) abakyagalako olukomera(perimeter fence) okutangira abawagizi okweyiwa mu kisaawe ng'omupiira guzannyibwa.

"Twagadde okwetegekera obulungi Vipers n'okwewala  ebintu bye bayinza okwekwasa nga tubawandudde mu  mpaka,bwatyo Moses Lubega omumyuka w'omutendesi wa Kajjansi bwe yategeezeza nga baakamala okutendekebwa ku Lwomukaaka emisana.

 
Abawagizi ba ttiimu zombi besunze ensiike eno nga buli ludda lwagala okukakasa lunalwo nti lwe lusinza obuwagizi ku luguudo lwe Ntebbe.
 
Vipers yakubiddwa Sc Villa mu mupiira gwe yasembyeyo okuzannya  mu liigi y'ababinywera  ggoolo 1-0, ate Kajjansi neewangula Manyangwa 1-0 mu liigi ya "Buganda Ligyion" ekyongedde puleesa ku  Vipers olw'obutaagala kusuula mupiira gwakubiri ogw'omudiringanwa n'okulabya abawagizi bayo ennaku mu kisaawe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muwala wa Kuteesa agaanyi o...

Muwala wa minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa amanyiddwa nga Shartsi Musherure Nayebare agaanye okukkiriza...

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...