TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Trump atandika nkya okwewozaako ku by'omukuggya mu ntebe y'Obwapulezidenti

Trump atandika nkya okwewozaako ku by'omukuggya mu ntebe y'Obwapulezidenti

Added 20th January 2020

ENTEEKATEEKA ziwedde Palamenti ya Amerika okutandika enkya ku Lwokubiri okuwozesa Pulezidenti Donald Trump, ababaka basalewo okumuggya mu ntebe eya Pulezidenti asinga amaanyi mu nsi yonna oba okumwejjeereza.

 Donald Trump

Donald Trump

 
Trump bagenda kumuwozesesa mu Palamenti enkulu eyitibwa Senate omutuula ababaka 100 ng'eno gy'alina omukisa ogusembayo oluvannyuma lw'okumeggebwa akalulu akaamukubiddwaako nga December 18, 2019 mu Palamenti ento eya House of Representatives ku misango gy'avunaanibwa ab'oludda oluvuganya gavumenti ye.
 
Trump yavunaaniddwa emisango ebiri; ogw'okukozesa 
obubi ofi isi ey'Obwapulezidenti  n'ogwokuyisa mu Palamenti olugaayu era emisango gyombi gyamusse mu vvi.
 
Yakubiddwaako obululu bwa mirundi ebiri; ak'okusalawo oba yakozesa bubi ofi isi ey'obwapulezidenti ako ne kamumegga kyabugazi n'obululu 230 ku 197 ate mu kalulu akookubiri ak'okusalawo oba yayisa olugaayo mu Palamenti, Trump nako teyakwatamu nga yameggebwa obululu 229 ku 198.
 
Palamenti eya House of Representatives erina ababaka 435 ng'ekibiina kya Democrats  kye kisinzaako ababaka abangi (233), ate ba Republicans abali mu buyinza balinako 179 era bonna tekuli yavudde mu Trump.
 
Ababaka 6 abatuula mu Palamenti eno amateeka tegabakkiriza kukuba kalulu wadde nga balina ebibiina bye 
bagwamu.
 
Ebifo 4 bikalu tebinnajjuzibwa. Oluvannyuma lw'okumeggebwa mu Palamenti eno, kati ensiitaano egenze mu Senate wabula eyo Trump alinayo enkizo kubanga ekibiina kye ekya Republican kye kisinzaayo ababaka abangi.
 
Ku babaka 100, ekibiina  kya Trump ekya Republicans kirinako ababaka 53, eky'aba Democrats kirinako 45, ate ababaka 2 tebalina kibiina era kisuubirwa nti Trump alina emikisa mingi okusimattukira ku mutendera guno.
 
Ababaka aba Senate batandika enkya ku Lwokubiri okuwozesa Trump, wabula kigambibwa nti ab'ekibiina kya Republican  olw'okubanga be basinga obungi mu Senate, bateekateeka obutaganya kiteeso ekyokuggyamu Trump bwesige kutuuka ku mutendera ogw'okuwozesa mukama 
waabwe.
 
Akulira ababaka aba Republicans  mu Senate Mitch McConnell y'akulembeddemu kaweefube ow'okulemesa ekiteeso era yalemesezza aba Democrats abaabadde bamusaba akkirize obujulizi obupya obwafuniddwa nga buluma Trump.
 
Bannakibiina kya Democrats  baalonze ababaka musanvu okuli: Adam Schiff (California) Jerry Nadler ( New York),  Zoe Lofgren ( California), Hakeem Jeffries ( New York), Val Demings (Florida),  Jason Crow ( Colorado) ne Sylvia Garcia (Texas) nga be bagenda okukola ng'abawaabi mu musango guno ate Trump ayungudde ttiimu ya bannamateeka be Pat Cipollone, Alan Dershowitz, wamu ne munnamateeka ow'erinnya Ken Starr eyali mu musango Bill Clinton eyali Pulezidenti bwe yali attunka n'emisango egy'okuganza Monica Lewinsky.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.