TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Kkwiini akkirizza Harry ne Meghan okukwekutula ku lulyo olulangira

Kkwiini akkirizza Harry ne Meghan okukwekutula ku lulyo olulangira

Added 20th January 2020

ABANGEREZA bongedde okusiikuuka emmeeme, Kwiini Elizabeth bw’akkirizza muzzukkulu we, Omulangira Harry Charles Albert David 35, ne mukyalawe Meghan Markle 38, okwekutula ku lulyo olulangira batandike obulamu obupya ng’abantu baabulijjo.

Kwiini yasazzeewo eggoye ku nsonga ya Harry ne Meghan emaze kati omwezi mulamba ng'ebobbya Abangereza omutwe era ng'olukongoolo balutadde ku mwana muwala Meghan alinamu omusaayi omuddugavu nti alabika aliko abaamuwendula okutabutatabula obwakabaka bwa Bungereza era nti y'akozesa Omulangira ensobi.

Kyokka Kkwiini mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Ssande yategeezezza nti ensonga za muzukkulu we Harry ne ffamire ye (Meghan ne mutabani waabwe Archie) baagikkaanyizzaako ng'olulyo Olulangira ne basalawo okubawa ekyanya batandike obulamu obupya era bajja kubawagira mu ngeri yonna.

Wabula yagambye nti bombi baggyiddwaako ekitiibwa ekya HRH wamu ne Harry okuggyibwako ebitiibwa by'abadde alina mu magye ga Bungereza gattako n'obutaddamu kukiikirira Kkwiini ku mikolo kyokka basigazza ebitiibwa byabwe ebya Duke ne Duchess ab'e Sussex.

Kkwiini era agambye nti Harry ne mukyalawe si baakuddamu kulabirirwa ku nsimbi ez'omuwi w'omusolo n'ensimbi Pawunda obukadde bubiri n'emitwalo 40 ze baafuna nga baddaabiriza amaka gaabwe amatongole, bakkiriza okuzisasula.

Wabula bino binyiizizza Abangereza ne bategeeza nti Kkwiini abadde alina okugoba Harry mu lulyo Olulangira n'agenda me Meghan ne bafuukira ddala abakopi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.