TOP

Emmotoka esse 8 abazina akadodi

Added 20th January 2020

ABANTU 8 ababadde bazina akadodi bafiiridde mu kabenje n’abalala ne bagenda n’ebisago ttakisi bwe yabasaabadde nga baddukira ku baakadodi mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

 Abatuuze nga bakungubagira bannaabwe.

Abatuuze nga bakungubagira bannaabwe.

Bya AMON MUKASA

ABANTU 8 ababadde bazina akadodi bafiiridde mu kabenje n'abalala ne bagenda n'ebisago ttakisi bwe yabasaabadde nga baddukira ku baakadodi mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

alt=''

 

Ku bano, abantu 6 nga kuliko abakyala basatu n'abasajja basatu ba ku kyalo kimu ate abalala babiri babadde ba ku kyalo ekikiriraanye. Mmotoka eyabatomedde ng'edda emabega yabadde nnamba UAW 686.

Akabenje kano kaagudde ku kyalo Kateete mu Ggombolola y'e Kasawo e Mukono wakati w'essaawa 2:00 ne 3:00 ez'ekiro. Akadodi mazina ga Bagisu agettanirwa mu bagenda okusalibwa embalu.

Abaafudde kwategeerekeseeko Emmanuel Sekyanzi 28, eyazikiddwa ku Lwomukaaga ku kyalo Kateete, Denis Kibira 15 naye eyaziikiddwa e Kateete, Simon Owori 29, Efulasi Nabuduwa 24, Hadijah Nantongo, Asuman Nsubuga ow'e Bukasa n'omulala eyategeerekeseeko erya Stella 24 nga ono abadde yajja kulya Ssekukulu mu maka ga mulalmu we Aziz e Kateete n'omulala omu ataategeerekese mannya.

Abaalumiziddwa kuliko Abdul Kato eyabadde akulembeddemu abagoma nga kati ali mu ddwaaliro e Nsambya. Ono yayisiddwa bubi okuli okumenyeka oluba n'olulimi okuyulika. Omulala kwabaddeko Bridget Namale.

Lawrence Kalyesubula eyawonye yategeezezza nti ye okusimattuka, ye yasoose okukuba engoma (Akadodi) okutuuka e Namaliri kyokka olw'okuba yabadde aliko omukolo omulala gw'agendako kwe kuzikwasa Abdul Kato ne beeyongeraayo naye n'agenda ku mukolo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.