TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Boofiisa ba poliisi Muhangi ne Anguma kkooti ebayimbudde

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne Anguma kkooti ebayimbudde

Added 21st January 2020

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa okuwamba bannansi ba Rwanda ayimbuddwa.

 SCP Jole Aguma ( ku kkono), Kwarisiima (wakati) ne Magada nga bali mu kaguli. Baayimbuddwa eggulo.

SCP Jole Aguma ( ku kkono), Kwarisiima (wakati) ne Magada nga bali mu kaguli. Baayimbuddwa eggulo.

Muhangi yasaba kkooti y'amagye emukkirize okweyimirirwa n'awaayo abantu babiri ab'okumusemba okwali akulira abakozi mu poliisi ACP Emmanuel Muhairwe n'omukugu mu kunoonyereza mu poliisi ACP Elvis Byamugisha.

Kkooti yamukkiriza okweyimirira ku bukadde 10 ezitali za buliwo n'abamweyimiridde buli omu ne bamulagira okusasula obukadde 20 nga nazo si za buliwo.

Nga February 19, 2019,  Muhangi yayimbulwa kkooti kyokka yali tannava mu luggya n'addamu n'akwatibwa abajaasi abaali mu ngoye za bulijjo nazzibwa mu nkambi y'amagye eya Military Police gy'abadde akuumirwa ne banne.

Amagye gaategeeza nga bwe waliwo emisango emirala egigenda okumuvunaanibwa kyokka n'okutuusa lwayimbuddwa nga tebannaba kuvunaanwa.

Kino kitegeeza nti akakalu kkooti ke yamuwa kaabadde kakyaliko era kwe yayimbuliddwa.

Eggulo, Muhangi yaleeteddwa ku kkooti y'amagye e Makindye okuva mu miritale era teyatwaliddwa mu kkooti wabula yagenze  ew'omuwandiisi wa kkooti eyamuwaddde ebbaluwa eraga nti akkiriziddwa okweyimirirwa.

Muhangi yakwatibwa n'avunaanibwa wamu ne yali mukama we Gen. Edward Kale Kayihura, Nixon Agasirwe ne boofiisa ba poliisi abalala emisango gy'okuwamba bannansi ba Rwanda okuli Lt. Joel Mutabaazi, Jackson Karemera ne Sgt. Vincent Kaliisa abaali banoonya obubudamu mu Uganda ne babazza e Rwanda nga tebalina lukusa.

Bano era bavunaanibwa okulagajjalira ebyokulwayisa naddala emmundu bwe baaziwa abantu abatalina kubeera nazo nga muno mwe muli ne yali omuyima wa boodabooda 2010 Abdallah Kitatta eyasibwa emyaka 10 lw'okusangibwa n'emmundu mu bukyamu.

Abalala abavunaanibwa ne Muhangi kuliko; Nixon Agasirwe eyali akulira ebikwekweto, Col. Ndahura Atwoki, Abel Tumukunde, Faizal Katende, SSP Joel Aguma, Benon Atwebembeirwe, SSP Richard Ndaboine, ASP Patrick Muramira, AIP Jonas Ayebeza ne D/C Abel Kitagenda. 

AGASIRWE ASIGADDEYO MU KKOMERA BANNE BAYIMBUDDWA

Ku kibinja kya boofiisa bano abavunaanibwa, ebikonge byonna biyimbuddwa nga kati eyali akulira ebikwekweto, mu poliisi SSP Nixon Agasirwe yasigaddeyo.

Kkooti y'amagye yayimbudde eyali akulira akakiiko ka poliissi akakwasisa empisa aka Police  Standards Unit (PSU) SCP Joel Aguma, D/CPL Amon Kwarisiima ne D/ASP James Magada ku kakalu kaayo.

Aguma yaleese abamweyimiridde nga bonna babaka ba Palamenti okwabadde Jimmy Akena, Felix Okoth Obong owa Dokoro South ne Joy Atim owa Lira disitulikiti kkooti be yakkirizza okumweyimirira.

Ono yayimbuddwa ne Amon Kwarisiima ne James Magada nga kkooti yabayimbudde ku kakalu ka bukadde 10 ezitali zaabuliwo nga abaabeeyimiridde buli omu waakusasula obukadde 20 nga  nazo si za buliwo.

Wadde Maj. Samuel Masereje ow'oludda oluwaabi yabadde awakanyizza okusaba kwabwe okweyimirira ng'agamba nti boofiisa bano balina obusobozi obuyinza okutaataaganya okunoonyereza n'abajulizi, looya waabwe Maj. Kamanda Mutungi yagambye nti bano tebayinza kubaako kyonna kye bataataaganya mu musango.

Bwe yabadde asoma ensala ya kkooti ku kusaba kwabwe, ssentebe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti yategeezezza nti batunuulidde okusaba kw'enjuyi zombi  ne basalawo abawawaabirwa bayimbulwe.

Yabalagidde okweyanjulanga ew'omuwandiisi wa kkooti buli Lwokusatu lw'oluvannyuma lw'ennaku 14, obutafuluma bitundu bya Kampala ne Wakiso nga tebafunye lukusa lwa kkooti n'okweyanjulanga buli lwe balagiddwa.

Aguma ne Muhangi beegase ku yali muka waabwe Gen. Kayihura, Col Ndahura Atwoki eyali owa Crime Intelligence nga baasooka okuyimbulwa. Kati Nixson Agasirwe ye munene ali ku fayiro eno asigadde mu kkomera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...