TOP

'Muntaase ku baana bange abanzibako ettaka'

Added 21st January 2020

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize.

 
Anamaria Nantume 93, omutuuze w'e Kawempe Mbogo zzooni mu muluka gwa Kawempe I y'agugulana n'abaana  abaatuuka n'okumutwala ku poliisi y'e Kawempe n'akakibwa okubawa omugabo gwabwe ku ttaka lye bayita erya kitaabwe.
 
Nantume yategeezezza nti bba, omugenzi Festo Lukwago yafa mu 2008 nga yalina abakazi 5 n'amuzaalamu abaana 7 ng'abasatu baafa ate abana abaasigalawo kwe kuli ababiri abamufuukidde ekyambika ku ttaka.
 
Yagasseeko nti ettaka lino kyasooka kuba kibanja kye yagula ku mugenzi Badru Kakungulu ekyali kiweza yiika emu n'ekitundu nga wano kitaabwe yajjangawo buzzi ng'oluvannyuma lw'okwagala okwegula yatundako n'asigazaawo desimoolo 62.
 
Yagambye nti mu 2016 yawaako omwana wa mwannyina Eva Nantume poloti ekyanyiiza bawala be, Sarah Namuddu ne Harriet  Nakabugo olwo ne batandika okumuteeka ku nninga nabo abawe omugabo gwabwe okukkakkana nga bamututte ku poliisi y'e Kawempe ng'eno gye yategeerera nti baali bajingiridde ekiraamo nga kiraga nti ettaka lyali lya Lukwako (kitaabwe).
 
Yagambye nti abaserikale  baamukaka okugabira abaana ettaka naye kye yakola kyokka ne bagaana okuteeka emikono ku ndagaano nga bagamba nti babawadde kitono ekyamuwalirizza okugenda mu kkooti y'e Nabweru okwekubira enduulu.
 
Yagambye nti omwaka oguwedde yazzeemu n'abawa kyokka ne bagaana ekyabaweereddwa ne bakigaana nga wano Nantume w'atabuliddwa ng'agamba abaana bandimuttira mu nju.
 
"Okuwangaala kuno kundabisizza ebinene, abaana be nzaala nga nnabaweererera n'abaana baabwe (abazzukulu) bansasuddemu kundaaza. Amazima ettaka lyange tekuli lya kitaabwe kuba n'okutundako nnatunda akyali mulamu. " Nantume bwe yategeezezza.
 
Yagambye nti yali yazimba n'enju okuli emizigo gy'abapangisa Nakabugo yagiwamba ng'ate yali yeetegekera bukadde bwe n'asaba abazirakisa bamuyambe bamutaawuluzeeko abaana.
 
NAKABUGO  AYOGEDDE
 
Harriet Nakabugo 47: Maama alimba ettaka lyali lya taata. Bwe  twali mu lumbe lwa taata e Gomba, ssenga Claire Nantongo yaleeta ekiraamo nga kyogera ku byobugagga bya ttaaka okwali ettaka ly'omu Kinaawa, Gomba ne maama w'ali.
 
Taata yali yangamba nti ettaka yaligulira maama ng'ali lubuto lwa muganda waffe Nalukwago. Maama by'agamba nti twagala kumugoba ku ttaka alimba nze njagala kkubo erintwala ku nju yange, ekirala waliwo abali emabega we abamusendasenda.
 
SSENTEBE W'EKYALO AYOGEDDE
 
Lule Kagubaala, ssentebe wa Kawempe Mbogo zzooni: Amazima ettaka lya Nantume naye abaana tugezezzaako okutuula nabo bagaanyi okutegeera ekituufu. 
 
NAMUDDU AYOGEDDE
 
Sarah Namuddu: Maama by'agamba nti twagala kumutta tetukisobola, ekiraamo baakisoma nga kigamba nti buli maama n'abaana be asigale ewuwe.
 
Nze omugabo maama gwe yampa ngukkiriza naye kati twagala abaana ba mwannyinaffe omugenzi Patrick Ssali nabo bafune.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...