TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako Sheikh Muzaata ennaku ya January

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako Sheikh Muzaata ennaku ya January

Added 21st January 2020

Omugagga Ham ne Kirumira banaazizzaako Sheikh Muzaata ennaku ya January

 Omugagga Ham, Godfrey Kirumira ne Sheikh Nuhu Muzaata nga bali ku kabaga Dr Hamza aka diguli

Omugagga Ham, Godfrey Kirumira ne Sheikh Nuhu Muzaata nga bali ku kabaga Dr Hamza aka diguli

Sheik, Nuhu Muzaata asisinkanye abagagga okubadde Hamis kiggundu ne Godfrey Kirumira n'abasonseka obugambo okukkakkana ng'abaggyemu ensimbi.

Muzaata eyabadde omu ku bagenyi ku kabaga ka bba w'omuyimbi Rema Namakula, Dr Hamzah Ssebunya bweyalabye abagagga Hamis Kigunddu  Ham ne ssentebe w'abagagga Godfrey Kirumira n'atandika okubacoomera nti abagagga mulye nga ku ssente zamwe, ate mwambaleko  bulungi n'abantu abalala abalina obwetavu nabo mu baawe ku ssente beyagale.

Ebigambo bino byasonsomodde omugagga Kirumira ne Ham  bwe baamuyise okwogerako eri abantu n'awaana Muzaata okwogera obulungi era n'amusuubuza okumuyita olunaku lumu ayogereko eri bagagga banne abeerumya ng'ate ssente bazirina naye ekirungi ye ne Ham bakitegeera dda  Muzaata kyayogera era nga mmotoka ze bavuga n'amayumba ge basulamu gamala okukakakasa Muzaata ky'ayogerako

Amangu ago Kirumira yaggyeyo akakadde k'ensimbi nga kamutwalo mutwalo n'akasonseka Muzaata n'afa essanyu nga ne mukyala we wali alaba era nayita ne Ham naye namusonseka akakadde akalala  olwo mu ddakika kkuumi zokka10 Muzaata yabadde asinga omuntu akola omwezi mulamba nga bamusasula 500,000/- ng'ate alina diguli.

Amangu ddala Muzaata yagudde abagagga bano mu kifuba n'abawaana nga bwebabitegera okukamala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Buli musajja gwe nfuna ande...

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza...

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...