TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnannyini ssomero bamusimbye mu kkooti ku musango gw'okusobya ku muyizi we

Nnannyini ssomero bamusimbye mu kkooti ku musango gw'okusobya ku muyizi we

Added 21st January 2020

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen Mukoye n’amusomera omusango gw’okusobya ku muyizi.

 Wamala ng'ali ku mpingu

Wamala ng'ali ku mpingu

Omulamuzi Mukoye owa kkooti ey'eddaala erisooka e Mpigi yamusomedde omusango n'addamu okumusindika ku limanda mu kkomera ekigo nga bw'alindirira okusindikibwa mu kkooti enkulu omusango guwulirwe.

Wamala yakwatiddwa Omwaka oguwedde oluvannyuma lw'omuyizi atannetuuka okumulumiriza nti yabadde amusobezzaako.

Ensonga yali azifutyanse wabula bwe byafuluma mu mawulire, pulezidenti Museveni yasinzidde ku kitebe kya poliisi e Nagulu mu lukung'aana lwa poliisi (police Council) n'alagira addemu akwatibwe.

Kino wekijjidde ng'omwaka ng'abantu bangi beekubira enduulu mu boobuyinza nti bakabasanyizibwa.

Omwaka oguwedde Samantha Mwesigye omukozi mu ofiisi y'omuwabuzi wa gavumenti mu by'amateeka yeekubira enduulu ng'agamba nti waliwo abamubeeba omukwano.

PALAMENTI EYINGIRA MU NSONGA:

Abakyala abalwanirizi b'eddembe ly'abakyala nga bakulemberwa Omubaka Ana Adeke Ebaju baatwala ensonga ewa Sipiika Kadaga n'agira okuteekawo akakiiko kanoonyereze ku nsonga eyo.

Lipooti y'akakiiko kano eraga nti abantu banji bakabasanyizibwa ku mirimu era kaasemba nti wabeerewo ekikolebwa n'amateeka gateekebwe mu nkola kubanga bangi abatusibwako ebikolwa bino ne bafiira eyo ekimugunyu.

Sipiika wa palamnti Rebecca   yakubirizza abakyala oba abawala abali mu bifo eby'enjawulo nga ku matendekero oba ku mirimu ng'abasajja babakaka omukwano baveeyo batwale ensonga mu boobuyinza baleme kuzisirikira.

Kino kyava ku Samantha Mwesigye okwekubira enduulu nti baali bamukaka omukwano ku mulimu gye yali akolera mu ofiisi y'omuwabuzi wa gavumenti ku by'amateeka.

Kadaga yalagidde abakyala nti bwe wabeerawo omuntu ng'amunyigiriza amukaka omukwano waakiri awandiikire sipiika yennyini ayingire mu nsonga.

Akakiiko kaasembye wateekebwewo namba y'essimu etali yakusasulira abaana abawala gye bayinza okukubako okuloopa ababakabasanya.

Minisitule okuli ey'ebyenjigiriza, ekikula ky'abantu, minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga bateekewo enkola ennyangu nga bonna basobola okuwuliziganya n'okulondoola ensonga z'abakabasanyizibwa.

Akakiiko kasemba nti etteeka erirambika eby'enjigiriza (Pre-Primary, Primary and Post-Primary) Act of 2008 likolebwemu ennongoosereza lirambike ku mbeera y'okukabasanya abayizi.

BALOOPYE 20 ABAKABASANYA ABAYIZI:

Akiikirira UNATU e Mpigi Barbara Kasule ategeezezza Bukedde nti baafuna emisango etaano ng'abayizi beekubira enduulu ku babakabasanya.

Ogumu ku misango gye baafunye kwekuli ogwa Wamala oguli mu kkooti. Ayongerako nti emisango egy'engeri eno bagisindika ku poliisi ne mu boobuyinza abasingako.

Akulira eby'enjigiriza e Butambala John Ssebakumba Kisitu agamba nti omwaka oguwedde yafunye emisango 20 ng'abayizi beekubira enduulu ku babakabasanya kyokka ng'abasinga bantu abava mu bitundu abaana gye bava.

ABABAKA BA PALAMENTI KYE BAGAMBA:

Robina Sentongo Nakasirye omubaka omukyala owa Kyotere awadde amagezi nti abazadde basaana okufuula abaana mikwano gyabwe kubanga ye yalinako omwana gw'ayamba kyokka ng'oluwummula lutuuse naye bamulagidde asigale ku ssomero bwe yamubuuza n'amutegeeza nti waliwo omusomesa omusajja eyali amutigatiga era yali asaze amagezi asigale ku ssomero amukozese.

 

"Okuggyako ng'amateeka gateekeddwa mu nkola oba okwongera okugakalubyamu ng'oyo akutte omukazi oba okusobya ku muwala abonerezebwa bw'abeera musomesa ebbaluwa n'esazibwamu abalala ne bamuyigirako" Nakasirye bwe yaggumizza.

NATIONAL CHILDREN AUTHORUTY (NCA):

Martin Kiiza akulira NCA ategeezezza nti bafulumya lipooti (State Of  Uganda's Children Report) esembyeyo bagifulumizza 2018.

Banoonyerezza ku bawala 22 ab'emyaka 15 ne bakizuula nti ku buli bawala   22 kuliko 11 abatulugunyiziddwa mu birowoozo ate buli bawala 22 bebabuuzizza kuliko 8 abakabasanyiziddwa.

Kiiza agamba nti bali mu kutalaaga masomero nga batondawo Child Rights Clubs era bamaze okukikola mu masomero 60. Zino ziyambako okutendeka abaana okwekuuma n'okubatendeka okulwanirira eddembe lyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...