TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadiventi beebugira lukung'aana lwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival

Abadiventi beebugira lukung'aana lwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival

Added 22nd January 2020

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw'aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival nga luno lwakumala ennaku nga luyindira mu kisaawe e Nambole.

 

Pulezidenti w'aba Advent, Dr Daniel Matte ategeezezza nga olukunngana luno bwe lugenda okutandika nga January 29, 2020 okutuusa nga Feb 1, 2020 era lwakwetabwamu abantu okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo ne mu mawanga agatulinaanye  bw'atyo n'akubiriz abantu naddala abalina bizinensi okukozesa omukisa guno basobole okuganyurwa mu lukung'ana luno.


Mu ngeri y'emu, Dr Matte ategeezezza nti ne mu ggwanga lya Rwanda babadde basuubirayo abantu abaneetaba mu lukungana luno kyokka kino kiyinza obutasoboka olwembeera eriwo nga wano w'asinzidde n'asaba  wabeewo enteeseganya ez'amangu ezikolebwa wakati w'amawanga okuzza embeera mu nteeko.

Ono era akubirizza abeebyobufuzi okubeera abakkakkamu mu buli nsonga yonna nga kino kyakuyambako okukuuma obutebenkevu mu ggwanga.

Ye Omulabirizi wa Central Uganda Conference, Samuel Kajoba yennyamidde olwabasumba abamu gye bakuttemu Bayibuli ku nsonga ezikwatana n'obufumbo nga bawakanya eky'okugattibwa n'ategeeza nti okuviira ddala ku luberyeberye Bayibuli eyogera ku musajja n'omukazi.

Omulabirizi Kajoba wano waasinzidde n'akubiriza abantu bonna okwerekereza byonna bajje beetabe mu lukungaana luno olwebyafaayo.

alt=''

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...