TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abalina obusobozi okufuna amazzi amayonjo beeyongede okusinziira ku alipoota ya TWAWEZA

Bannayuganda abalina obusobozi okufuna amazzi amayonjo beeyongede okusinziira ku alipoota ya TWAWEZA

Added 23rd January 2020

Bannayuganda abalina obusobozi okufuna amazzi amayonjo beeyongede okusinziira ku alipoota ya TWAWEZA

 Omu ku bakingu ba Twaweza ng'annyonnyola ku alipoota y'enkozesa y'amazzi mu bitunfu bya Uganda eby'enjawulo

Omu ku bakingu ba Twaweza ng'annyonnyola ku alipoota y'enkozesa y'amazzi mu bitunfu bya Uganda eby'enjawulo

BANNAYUGANDA abalina obusobozi okufuna amazzi amayonjo beeyongedde okusinziira ku kunoonyereza okwakoleddwa aba Uganda Water and Sanitation NGO Network (UWASNET) nga bali wamu ne Twaweza East Africa.

Bino byayongedde okukakasa ebyabadde mu kwogera kwa pulezidenti ng'asoma embalirira y'eggwanga ey'omwaka 2019/2019.

Yagambye nti ebitundu 71 ku 100 mu byali birina amazzi ate mu kibuga ebitundu 80 ku 100 balina amazzi amayonjo.

Ebyalo 38,200 bino bikola ebitundu 66 ku 100 ku byalo ebiri mu Uganda byonna bifunye amazzi  amayonjo.

Obuyonjo mu byalo buyimiridde ku bitundu 79 ku 100 ate mu bibuga obuyonjo buli ku bitundu 87.4 ku 100. lipooti ya Twaweza yafulumuziddwa November 2019.

 OKUNOONYEREZA KWA TWAWEZA BYE KUZUDDE MU BUJJUVU:

·Abakima amazzi mu bifo by'olukale balina okutambula olugendo oluwanvu.

·Abantu abali mu byalo okufuna amazzi ga taapi kizibu ate nga mu bitundu ebimu tewali ddala mazzi mayonjo.

·Ebitundu ebimu omuntu alina okutambula olugendo luwanvu okumala essaawa namba kusobola okutuuka mu kifo waanaafuna amazzi.

·Nga bamaze okugafuna era basanga okusomoozebwa okugakozesa nga gatuukiridde okusinziira ku kunoonyereza kuno, amaka abiri (2) gokka ku maka asatu (3) beebasobola okufumba oba okukozesa eddagala erirongoosa amazzi nga tebanna kuganywa.

·Abantu abali mu bibuga bakola ebitundu 82 ku 100 n'abo abasobola okukozesa amazzi ga taapu abawera ebitundu 84 ku 100 mu bbanga lya mwaka gumu oguyiseewo.

 EBIGENDA OKUKOLEBWA OMWAKA GW'EBYENSIMBI 2019/2020:

Pulezidenti Museveni bwe yabadde awa embalirira y'omwaka gw'ebyensimbi guno yagambye nti gavumenti egenda kugaziya empeereza y'amazzi ga payipu egatteko kabuyonjo ez'omulembe ezitangira okusasaanya endwadde.

Okwo waakugattako okuzimba ebifo ebisengejja kazambi mu bitundu by'ebibuga eby'enjawulo. Yataddewo sente okuzimba n'okuddaabiriza enzizi mu byalo ne zinayikondo.

Bino n'ebirala bingi okubituukiriza obulungi yataddewo tuliriyoni 1.1 ng'essira kyakuteekebwa ku mazzi agakozesebwa mu makolero n'ennimiro ez'okufukirira.

Yataddewo bbiriyooni shs 100.9 okusima enzizi mu byalo ate mu bibuga ne bafuna bbiliyoni 463.1, ate bbiriyoni 218.5 zateekeddwa mu nteekateeak z'okufukirira okwomulembe.

MINISITULE Y'AMAZZI N'OBUTONDE KY'EGAMBA:

Nga bakuza wiiki y'amazzi n'obutonde (Uganda Water and Environment Week-2019) omuwandiisi ow'enkalakkalira  Alfred Okot Okidi yawadde lipooti ku bye batuseeko.

Yategeezezza nti bazimbye nayikondo 982 empya n'okuddaabiriza endala 1,571 ne baziddaaabiriza.

Bazimba ebyuma mu bifo 30 ebikozesa amaanyi g'enjuba nga bisobola okupika amazzi ne gatuuka ku bantu abagakozesa.

Baazimbye ttaka 751, ezisobola okukung'aanyizibwamu amazzi g'enkuba mu bifo eby'enjawulo. Lc eziwera 515 mu bitundu by'ekibuga zisobola okufuna amazzi amayonjo.

Ebifo 31 mu bubuga obw'enjawulo byawedde okuzimba okugabirira abantu amazzi. Amaka 9,477 gaafunye ttaapu n'ebitongole eby'enjawulo byafunye ttaapu 258. Obubuga 26 busobodde okufuna amazzi, obulala 66 buli mu nteeketee pulaani zawedde okukuba.

EBITUNDU BYE TUTUSEEMU:

Lipooti ya Uganda Bureau of Statistics esembyeyo okufuluma nga babala abantun'ebintu byabwe eraga nti mu disitulikiti y'e Mpigi mu ggombolola   Buwama, Nkozi ne Kituntu embeera ekyali mbi.

Waliyo abantu 114,904 kyokka mu bajeti y'omwaka 2018/2019 ekitundu ky'omwaka ekisembyeyo eky'emyezi esatu, gavumenti yabawadde 347,788/- okukola ku nsonga z'amazzi.

Abasobola okufuna amazzi amayonjo e Nkozi bali 39.9 ku 100, Kituntu bali 49 ku 100 ne Buwama 41.2 ku 100. Abalina amazzi aga ‘pipe' bali 1,603 bano bakola ebitundu 5 ku 100 n'abakozesa amazzi aga nayikondo 10,359.           

Eno osangayo abantu abatalina kaabuyonjo wadde ey'enkoma bali 1,139 bw'omubuuza waakyamira akwata kakumbi ne yetoloola emmanju oba mu mimwanyi.

ABAKULEMBEZE KYEBAGAMBA:

Kansala Godfrey Nalima akiikirira ggombolola y'e Kituntu ku disitulikiti ategeezezza Bukedde nti embeera y'okufuna amazzi amayonjo ekyali nzibu.

Osanga abantu ku byalo ebimu nga balina okutambula mayiro bbiri okufuna amazzi abalala bwe balaba awali nayikondo eya soola waakiri bagakima ku ssaawa 4:00 ekiro.

"Nze ntuula ku disitulikiti naye akasente ketufuna akatono omwaka gw'ebyensimbi oguwedde twazimbayo nayikondo bbiri zokka" Bw'annyonnyo ne yewuunya nti ku byalo 320 ebiri mu disitulikiti birifuna ddi amazzi byonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...