TOP

Abapangisa aba boda ne babatta bazzeemu

Added 23rd January 2020

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso

Bya SHAMIM NABUNYA ne DEBORAH NANFUKA

ETTEMU ku ba bboodabbooda lizzeemu mu Kampala abasajja babiri bwe babapangisizza omu ne bamutta ate omulala n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago n'ebiwundu by'ejjambiya.

Eyattiddwa, amannya ge tegaategeerekese wabula omulambo, abatuuze abaabadde bakedde okugenda okukola be baagulabye mu lusuku lw'ebitooke bya Abowazi Muwanga mu zooni ya Kweba e Mutundwe okuliraana ekkanisa ya Mutundwe Christian Fellowship eya Pasita Tom Mugerwa.

Ate ye Charles Lukwago 30, omutuuze w'e Bukasa - Kirinnya mu Munisipaali y'e Kira apooca mu ddwaaliro e Mulago gye twamusanze n'ebisago by'ejjambiya, mu bulago, mu kifuba ne ku liiso bye yafunye ng'ababbi bamunyagako ppikippiki ye nnamba UEZ 362/U gye yabadde yaakafuna ku looni.

Ono yatutegeezezza nti, yapangisiddwa abasajja babbiri okuva e Kirinnya okubatwala ku bbaala eyitibwa Bayijuka e Mutungo, baabadde banaatera okutuukawo ababbi ne bamulagira abongereyo mu maaso ng'alaba tewali buzibu n'amataala gaaka.

Agamba nti, zaabadde mu ssaawa 3:00 ez'ekiro ekyakeesezza Olwokusatu omu n'asowola ekiso mu nsawo n'amufumita ne balwana ne bamwongera ebiso ebirala bisatu mu bulago, mu kifuba ne ku liiso.

"Waaddewo omukazi ng'ayitawo eyabadde annyuse ng'addayo ewuwe n'akuba enduulu abantu ne bajja okunnyamba ng'ababbi bamaze okugenda ne ppikippiki" Lukwago bwe yategeezezza.

Jalia Nkinzi mwannyina wa Lukwago yagambye nti, ababbi olwamaze okumufumita ebiso, baakozesezza essimu ye ne bamukubira ne bamutegeeza nti mwannyina ababbi bamufumise ne bamala ne bagiggyako.

Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yagambye nti, omusajja eyattiddwa, tebaasobodde kumutegeera mannya n'engeri gye yattiddwaamu tebannagikakasa bulungi kubanga teyabaddeko kintu kyonna kiraga nti, yabadde atemuddwa.

Kyokka bbo abatuuze bateebereza nti, baamutugidde ku kkubo omulambo ne baguwalula okugutuusa mu lusuku gye gwasangiddwa. Abatuuze baalabye omukululo oguteeberezebwa nti, gwakoleddwa ebigere by'owa bboodabbooda eyattiddwa nga bamukulula.

We baamusudde, waabaddewo kasasiro eyabadde ayokebwa era omuliro gwamwokezza mu maaso ekyazibuwalizza abatuuze okulaba oba bamumanyi.

Poliisi y'e Nateete yayitiddwa ne yeekebeggya omulambo nga teguliiko kantu konna kagwogerako era baagututte mu ggwanika e Mulago nga tewali ategedde mannya ge.

Akulira ebyokwerinda mu kitundu kino, Eric Mukasa Tamale yagambye nti, abantu abasinga mu kitundu bazimbye ebikomera kyokka tebafaayo kuteekako mataala ekireetedde enzikiza okukwata mu kitundu kyabwe abatemu ne beegiriisa.

Yagasseeko nti, obubbi bwa bboodabbooda mu kitundu kyabwe bukyase nnyo ensangi zino nga kumpi buli wiiki wabeerawo owa bbooda gwe bakuba ennyondo.

Ate ye Swaibu Karabu omu ku batuuze mu kitundu yagambye nti, ababbi bakozesa omukisa gw'abantu ababa bava mu kkanisa ekiro nabo ne babeerimbikamu ne bapangisa aba bboodabbooda abakolera ku kkanisa eno ate ne babatta.

We battidde omusajja ono, kinnya na mpindi ne kkamera ya poliisi era abatuuze baasabye poliisi ekebere ebifaananyi kkamera zaayo bye zaakutte okuzuula abatemu. Omusango gw'obutemu gwagguddwaawo ku fayiro SD 02/22/01/2020 ku poliisi y'e Mutundwe ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...