TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba n'abba poliisi emukutte

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba n'abba poliisi emukutte

Added 23rd January 2020

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda mu kizimbe kya Mukwano Courts ekisangobwa ku Buganda Road n'abba laptop mu ofiisi emu oluvannyuma lw’okulabiriza omuntu eyagibaddemu ng'afulumye.

 Allan Nkumba agambibwa okubba laptop.bbayo laptop

Allan Nkumba agambibwa okubba laptop.bbayo laptop

 

POLIISI mu Kampala ekutte omusajja agambibwa okugenda mu bizimbe ne ofiisi ez'enjawulo   n'abba ebintu naddala laptop n'ayogera gy'azitunda

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS  ku Lwokusatu oluvannyuma lw'okugenda mu kizimbe kya Mukwano Courts ekisangobwa ku Buganda Road n'abba laptop  mu ofiisi emu oluvannyuma lw'okulabiriza omuntu eyagibaddemu ng'afulumye.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti abakulira eby'okwerinda ku kizimbe kya Mukwano Courts beekengedde Nkumba ng'akutte laptop ng'afuluma ne bamukwata ne bayita abaserikale.

"Waliwo omusajja abadde agenda mu bizimbe ne ofiisi ez'enjawulo n'alabiriza abakolamu  nga bafulumye n'abbayo ebintu  n'abitwala okubitunda era ng'ono yakwatiddwa lubona ng'alina laptop gye yabadde abbye mu ofiisi ku kizimbe kya Mukwano courts  n'akwasibwa poliisi" Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti nga Nkumba atuusiddwa ku poliisi ya CPS, yabuulidde abaserikale abaakulembeddwa OC wa CPS Edgar Kulayigye  nga bw'agenda mu bizimbe by'enjawulo n'abbayo ebintu era ng'akikoledde ebbanga okutuusa lwe bamukutte.

Yategeezezza nti Nkumba yagambye nti atunda ebyamasannyalaze e Kabowa era yabuulidde abaserikale nga laptop z'abba bw'aziguza omuvubuka gw'amanyi nga Munyarwanda akolera ku kizimbe kya Mutaasa  nga buli emu agimuguza emitwalo 50.

Nkumba yaguddwaako omusango gw'obubbi oguli ku fayiro nnamba SD 67/22/01/2020 ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso omuli okubatwala ku duuka w'atunda eminyago.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...