TOP

Minisita Kasolo awabudde abavubuka ku mivuyo

Added 24th January 2020

Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo, era omubaka wa Palamenti owa Kyotera, akuutidde abavubuka okwewala emivuyo bwe baba baagala okugenda mu maaso n’okweyagalira mu nsi yaabwe. Bino yabogeredde Gayaza ku musanvu ku mukolo gwa SACCO y’abookya embuzi eya Kiteetikka Mbuzi Market Cooperative SACCO, kwe baabadde bagabira bannaabwe ettaka ne ppikippiki okwekulaakulanya era ye yabadde omugenyi omukulu.

 Minisita Haruna Kasolo ng'awaayo ssente eri aba SACCO y'abookya embuzi e Gayaza.

Minisita Haruna Kasolo ng'awaayo ssente eri aba SACCO y'abookya embuzi e Gayaza.

 

Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo, era omubaka wa Palamenti owa Kyotera, akuutidde abavubuka  okwewala emivuyo bwe baba baagala okugenda mu maaso n'okweyagalira mu nsi yaabwe.

Bino yabogeredde Gayaza ku musanvu ku mukolo gwa SACCO y'abookya embuzi eya Kiteetikka Mbuzi Market Cooperative SACCO, kwe baabadde bagabira bannaabwe ettaka ne ppikippiki okwekulaakulanya era ye yabadde omugenyi omukulu.

 inisita aruna yeyune asolo wookubiri ku ddyo ku mukolo gwokugaba ppikippiki eri  yabookya embuzi e ayaza Minisita Haruna Kyeyune Kasolo (Owookubiri ku ddyo) ku mukolo gw'okugaba ppikippiki eri SACCO y'abookya embuzi e Gayaza.

 

Yabawadde obukadde 10 bongere mu SACCO yaabwe beekulaakulanye.

Yagambye nti, omwaka guno gavumenti yateekawo ssente nnyingi ez'okugabira ebibiina 17 mu buli disitulikiti ya Uganda ebyetegese obulungi bongere okwekulaakulanya, nti kale basaanye beewale emivuyo ng'okwekalakaasa, n'emivuyo gy'ebyobufuzi emirala bwe baba baagala okugenda mu maaso.

Ku mukolo guno abavubuka basatu okuli, Sharif Kiyimba, Edward Kigozi ne Cryspus Ahimbisibwe baawangudde ppikippiki ate Josua Ibanda ne Frank Jacob Odongo ne bawangula poloti eza ffuuti 50 ku 100, oluvannyuma lw'okukwata obululu.

Frank Jacob Odongo, ssentebe wa SACCO eno alojjedde minisita ebizibu bye bayitamu omuli; obutaba na kifo kigazi era bakolera mu kkubo, entambuza y'embuzi okuva mu bitundu by'ewala ne ssente entono mu SACCO, ate nga ba memba bangi beetaaga ssente okwewola beekulaakulanye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...