TOP

Abasajja bannemye okulondako

Added 25th January 2020

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri. Omukyala omukulu yamutongoza ate omuto akyali mu muzigo era wa kyama naye amulinamu abaana babiri lwakuba embeera ze talabika bulungi. Kati ate ono ssenga alina abakyala alina ssente eziwerako. Nkoze ntya njagala ssente n’obufumbo.

MWANA wange ssente bakola nkole. Kati oyo alina ssente manya nti asobola okufuuka omwavu ate atalina n'agaggawala.

Omusajja ono alina ssente newankubadde olabika kw'osibidde naye alina abakyala babiri.

Omukyala owookubiri wa kyama kitegeeza nti naawe ojja kufuuka waakyama. Ogambye talabika bulungi ate ng'omusajja alina ssente, lwaki alabika bwatyo?. Tamanyi kwefaako oba omusajja tamulabirira bulungi?.

Amuzaddemu abaana babiri naye tamutongozanga, lwaki olowooza nti waakyama? Ebyo byonna byebuuze nga tonnasalawo. Ekirala abasajja bano omaze nabo bbanga ki?

Kubanga oluusi abawala beerimba nti ddala bali mu mukwano naye nga bwagazi bwe bubakozesa.

N'ekirala obumalirivu obumanyira ku ki? Basajja bangi aboogera ebigambo naye nga tebabitegeeza, era bangi bakola ebintu ffe abakyala bye tulowooza nti mukwano naye nga balina kye baagala era bwamala okukifuna ng'akulekawo.

Weetegereze abasajja bombi okumala ekiseera naye ow'abakyala ababiri aliko akabuuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...