TOP

Omutuuze w'e Kanyanya afiiridde mu Amerika

Added 25th January 2020

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.

Kyaterekera mutuuze w'e Kanyanya mu Kitambuza Zooni. Nnamwandu w'omugenzi James Kirumira. Yazaalibwa August 20, 1951.

Yalwala kansa wa nnabaana, era ku ntandikwa ya January, abaana be ne basalawo okumutwala mu Amerika mu ddwaaliro lya Mass General Hospital e Boston mu Ssaza ly' Massachusetts okwongera okumujjanjaba.

Abasawo baazuula ng'alina kkansa emyezi mukaaga egiyise. N'ajjanjabirwa ku Platinum e Wandegeya, e Nsambya n'e Mulago mu Cancer Institute.

Muwalawe, Immaculate Kirumira yategeezezza nti omulambo gutuuka ku Lwakubiri nga January 28, 2020 okuva mu Amerika.

Wajja kubaawo okusaba kw'okwebaza Katonda olw'obulamu bwa Kyaterekera mu kkanisa ya St John's Kanyanya Church of Uganda ku Lwokusatu nga January 29, 2020.

Omulambo bwe gunaggyibwa mu kkanisa gujja kutwalibwa mu maka ge e Kanyanya gye gunaasula olwo aziikibwe ku Lwokuna nga January 30 e Ttula-Kawempe okumpi n'ekkanisa ya St John's Ttula Church of Uganda ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji ...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji baweddeyo omusaayi okutaasa Bannnaabwe okirwadde kya Corona