TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ddala kiki ekyasse omugagga wa Kabojja Junior School? Baasoose kumutwala mu mawanga 5 okumutaasa!!

Ddala kiki ekyasse omugagga wa Kabojja Junior School? Baasoose kumutwala mu mawanga 5 okumutaasa!!

Added 25th January 2020

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne batandika okumutambuza mu basawo abakugu mu mawanga 5 mu kaweefube w’okutaasa obulamu.

 Essomero ly'omugenzi Nasser Lubega erya Kabojja.

Essomero ly'omugenzi Nasser Lubega erya Kabojja.

Haji. Nasser Lubega, yafudde ku makya g'Olwokutaano oluvannyuma lw'emyezi mukaaga ng'aba famire balwana okumufunira obujjanjabi obusinga okuba obw'amaanyi, kyokka embeera ng'egenda bugenzi mu maaso kutabuka.

Muganda we, Haji Swamadu Bakaayana Musoke yagambye nti baasooka kumutwala e Bangkok mu Thailand bwe byalema ne bamutwala e Buyindi, wabula nayo ne birema ne bamutwala e Yitale nga nayo embeera eyongera kuba mbi ne bamuzza e Spain kyokka era nga tebalabawo njawulo kwe kubalagirira eddwaaliro e Cairo mu Misiri ne bamutwalayo, wabula embeera n'eyongera kwonooneka.

Kigambibwa nti nga bali mu ddwaaliro ly'e Cairo nga n'embeera egaanyi okutereera, Haji Lubega yategeeza aba famire nti awulira akooye okumuzunza mu malwaliro era n'abagamba bamuzze mu Uganda waakiri afiire ku butaka.

Kino aba famire baasooka kukiwakanya, wabula omulwadde nti n'alemerako nnyo era mu kusoberwa ne bakkiriza omulwadde kye yali alemeddeko eky'okumuzza mu Uganda.

Mu kumuzza baamufunidde ennyonyi eyamuggye e Misiri era ne bamutuusiza e Ntebe mu ddwaaliro eriyitibwa Entebbe Memorial Hospital we yamaze wiiki ssatu n'afa!

KIKI EKYASSE HAJI LUBEGA

Aba famire bagamba nti Haji Lubega yasooka kutawaanyizibwa mu lubuto, emmere esinga n'agivaako olwo n'atandika okulya ebivaavava (greens) kumpi ne bifuuka emmere ey'ekyemisana n'ekyeggulo.

Amalwaliro mu Uganda gye yasooka okugenda tegaazuulirawo buzibu we bwali buva. Mu kusoberwa okwo, kigambibwa nti waliwo abooluganda abamu abaafuna endowooza nti osanga waliwo omuntu eyali akoze Haji ekikyamu.

Mu kiseera ekyo waaliwo okusika omuguwa naddala nga kuva mu bamu ku ba famire y'omugenzi Wilberforce Wamala Ssendeeba gwe baatemulira mu makaage e Mutungo mu Kampala.

 maka gomugenzi asser ubega mu katono waggulu abadde nnannyini ssomero lya abojja unior chool Amaka g'omugenzi Nasser Lubega (mu katono waggulu) abadde nnannyini ssomero lya Kabojja Junior School.

Abamu ku ba famire ya Wamala baali bagamba nti Haji Lubega yali akolagana ne Wamala era nga balowooza nti alina ebimu ku byama Wamala bye yamugamba ebiyinza okuyambako mu kunoonya abatemu, wabula Haji Lubega ebyo yabyesammula.

Mu butali bumativu obwava ku ludda lw'abamu ku ba famire ya Wamala, abamu ku booluganda lwa Lubega we baatandikira okuteebereza nti osanga ebirwadde ebyali bitawaanya Haji byandibaamu obutwa.

Abamu baatuuka n'okulowooza ku ntalo za bizinensi, ffitina n'enge mu bamu ku bantu ababadde batakwatagana bulungi ne Haji Lubega.

Kyasalwawo atwalibwe mu ddwaaliro ebweru w'eggwanga bazuule ekituufu. Kigambibwa nti bwe baamutwala mu ddwaaliro ly'e Bangkok mu Thailand gye baakizuulira nti obulwadde obwali bumumazeeko emirembe bwali bwakwata ku kibumba era oluvannyuma abasawo ne bafulumya lipoota ng'eraga Kkansa wa ku kibumba.

Wadde Haji Lubega abadde afuna obujjanjabi obw'amaanyi, kyazuulwa nga Kkansa yali yasensera nnyo ekibumba era oluvannyuma yasaasaanye n'atuuka ne ku mawuggwe.

BAYIMIRIZZA OKUWANDIISA ABAYIZI NGA BAKUNGUBAGA

Abakozi ku ssomero lya Kabojja Junior School e Kololo baaguddemu ekiyongobero n'okuwandiika abayizi abagenda okutandika olusoma olutandika nga February 3, 2020 ne kuyimirira, nga bafunye amawulire nti nnannyini ssomero afudde.

Ku miryango gyonna egiyingira mu ssomero, kwateekeddwaako ebipande ebitegeeza abagenyi n'abazadde abaleeta abaana nti, ofiisi zaggaddwa olw'okufa kwa Lubega okutuusa ku Mmande nga January 27, 2020.

Omu ku basomesa be twasanze ku ssomero ng'ali mu nnaku yagambye nti, embeera ya Haji yatabuka mu August w'omwaka oguwedde, era amaze emyezi mukaaga nga bamutambuza mu malwaliro ag'enjawulo mu mawanga g'e Bulaaya, Asia ne Afrika naye ng'embeera tetereera.

Yagambye nti we baatwalira Lubega ng'amaze ekiseera nga yava ku mmere enfumbe n'atandika kulya bivaavava na bibala. Nti yateranga kusiibirira ‘carrot', nnakati atali musiike n'ebibala naddala 'water melon.'

Yagasseeko nti mu October 2019 baategezebwa nti embeera ya Haji yali etabuse nnyo era ne batandika okumusabira ennyo.

 maka ga ubega amakulu e aruga Amaka ga Lubega amakulu e Garuga.

Wiiki ssatu emabega baategeezebwa nti Haji Lubega yali akomezeddwaawo, naye ng'akyetaaga okusabira ennyo kubanga embeera nti yali tesanyusa.

Amakaage amakulu gali Garuga ku lw'e Ntebe kyokka abadde n'amalala e Kololo okuliraana essomero lye erya Kabojja Junior School lye yatandika mu 1998.

Richard Okiror akulira Kabojja Junior yagambye nti, yasemba okwogera ne Haji Lubega mu November 2019.

Yagambye nti Haji Lubega mu kwogera yamugamba nti, "Mugenda kukola ebigezo bya PLE nga siriiwo naye mube bagumu."

Okiror nti yamuddamu nga naye amugumya nti buli kimu kijja kutambula bulungi era kyamusanyusizza okuba ng'abayizi baayise bulungi. Eky'omutawaana, Haji Lubega yafudde nga waakayita wiiki emu ng'ebyava mu bigezo bimaze okukomawo.

ALESE EBYOBUGAGGA MU UGANDA N'EBWERU

Lubega, abadde musajja munnabyanfuna eyakuguka mu bya bbanka era y'omu ku baatandika Greenland Bank ng'ali wamu ne banne abeegatta ku mugenzi Dr. Sulaiman Kiggundu era y'omu ku baali baddukanya Bbanka.

Yalina emigabo mu Kabojja International kyokka oluvannyuma yatunda emigabo egyo era n'atandika Kabojja Junior School e Kololo nga kati ly'erimu ku masomero agasinga amaanyi mu Kampala. Mu kiseera ekyo, Greenland Bank yali etandise okufuna ebizibu.

Ebizimbe bya Kabojja Junior School ebyasooka, byaggulwawo mu November 1998 ate essomero okutandika okukola, lyatandika February 1999 nga wabula emyezi ebiri gyokka Greenland Bank eggalwe mu April 1999.

 a gano maka ga mugenzi e ololo Na gano maka ga mugenzi e Kololo.

Okiror yagambye nti, baatandika n'abaana 72 bokka wabula kati balina abayizi 1,500.

Abadde alina ebyobugagga ebiwerako okuli amayumba 2 e Kololo ku Mackenzie Close ku poloti nnamba 23 n'amalala gali ku plot 51 kw'ossa e Garuga ne mu Kampala nga kw'ogatta n'ebyobugagga ebirala by'alina e Bungereza.

AMAZIGA KU MUZIKITI E KIBULI

Abanene bangi baagenze e Kibuli mu kusaalira Haji Lubega, wabula bangi amaziga gaabayiseemu nga bajjukira emirimu Lubega gy'akoledde Obusiraamu n'eggwanga lyonna okutwalira awamu.

Okusaala okwatandise ku ssaawa 5:00 ez'oku makya g'Olwokutaano kwakulembeddwa Supreme Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa eyagambye nti, Lubega abadde Musiraamu ow'amazina, omwesigwa ate ng'ayagaliza era abadde ekyokulabirako ekirungi eri abalala.

Yagasseeko nti, abadde musajja mufunyi, alina ssente ate ng'agabirako abalala. Abadde atikka emmere ku mmotoka n'agitwala mu masomero ga UPE e Butambala n'agaba. Abadde ateeka ekitiibwa mu bantu era abadde muyivu ng'obuyivu bwe abakukozesa okuzimba abalala.

Obubaka bwa Katikkiro wa Buganda bwasomeddwa omumyuka wa Katikkiro asooka, Haji. Twaha Kawaase n'agamba nti, abadde musaale nnyo mu kutumbula eby'enjigiriza mu ggwanga ate nga mukwano nnyo gw'Omulangira Kassim Nakibinge era bingi byakoze okukulakulanya abantu mu Buganda ne Uganda yonna.

Lubega y'omu ku beetaba mu kutegeka embaga y'Omulangira Nakibinge mu December 2009 era babadde ba mukwano ffa nfe.

Oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa e Gombe mu Butambala, gye bazaala Haji Lubega era basoose kusoma dduwa ku ssaawa 7:00 ez'emisana n'oluvannyuma ne baziika ku ssaawa 10:00 ez'akawungeezi.

 upreme ufti drangwa mu kusaalira omugenzi u katono mulangira akibenge ngakungubagira mukwano gwe Supreme Mufti Ndrangwa mu kusaalira omugenzi. Mu katono Omulangira Nakibenge ng'akungubagira mukwano gwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...