TOP

'Twagala Mityana eyegombesa'

Added 25th January 2020

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki n’akyusa ekifo ky’okwesimbako n’adda ku kya ssentebe wa disitulikiti y'e Mityana.

 Patrick Mugisha, ng'ayogerako eri abantu b'eggombolola y'e Kalangaalo - Mityanaalangaalo

Patrick Mugisha, ng'ayogerako eri abantu b'eggombolola y'e Kalangaalo - Mityanaalangaalo

Bya Hazaima Kaweesa

Mugisha agamba nti ekimuwalirizza okujja ku kifo kino bwe bukulembeze obuli mu kitundu kino obutamatiza bulungi bantu ate nga bassibwamu abantu obwesige okukolera ekitundu.

Agamba nti edda eby'enjigiriza mu Mityana byali waggulu nnyo ng'abaana bayitira waggulu naye kati baddiridde nnyo era nga kiyinza okuba ng'obuzibu buva ku bakulembeze obutalondoola bulungi byanjigiriza.

Ayongeddeko nti  n'enguudo zennyini si za mulembe ate nga abakulembeze abaalondebwa baali baasuubizza ensonga zino zonna okuzikolako.

‘'Bwe nnaalondebwa mu bukulembeze nja kufuba okulaba nga Mityana mmufuula eyeegombesa buli omu era nteme n'emiwaatwa gyonna ekitundu kyaffe kikule,'' Mugisha bwe yayongeddeko.

Mugisha yavuganyaako mu kalulu ka 2011 ne 2016 nga yeesimbye ku  Kiwanda Godfrey  kyokka n'awangulwa naye ku mulundi guno agamba nti Bannamityana bamusabye ajje ku bwassentebe bwa disitulikiti.

 atrick ugisha alamuza kya ssentebe wa ityana Patrick Mugisha alamuza kya ssentebe wa Mityana

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...