TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

Added 27th January 2020

Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

 Kisuule (wakati) nga bamukutte.

Kisuule (wakati) nga bamukutte.

BULIJJO abantu bamulaba n'ekidomola ky'amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo. Baamaze kumukwata ne balyoka bakitegeera nti omwo mw'abadde atambuliza emmundu!

David Kisuule nga wa magye bamulumiriza nti y'abadde akulembera ekimu ku bibinja ebirumba ab'amaduuka ga Mobile Money ne babanyaga era olumu n'okutta batta! Kigambibwa nti ekibinja kino kibadde kitigomya nnyo e Mukono, Lugazi, Njeru n'ebitundu ebimu mu Kampala.

Emmundu gye baamusanze nayo, poliisi egamba nti ye yakozeseddwa mu kulumba owa Mobile Money Sofia Nakayaga ow'e Lugazi ne battirawo omukozi we Evelyn Nantale 16, era ne "Bbebi" wa Nakayaga ne bamutuusaako ebisago.

Nantale eyattiddwa ye yabadde asitudde Bbebi era omwana ono essasi lyamukubye olugalo ne lukutukako. Nakayaga yabadde annyuse wabula ab'emmundu ne bamulinnya akagere nga baagala okumubbako ensimbi. Baamugendedde ku mugongo era olwabadde okuyingira ennyumba, nabo ne bayingira ne bamulagira abawe ensimbi zonna ze yabadde akoze ku Mobile Money.

Nantale baamukubye essasi ng'agezaako okukubira ababbi enduulu era n'afiirawo. Oluvannyuma baakutte ssente zonna ne badduka nazo, wabula olw'amasasi agaabadde gakubiddwa n'enduulu abatuuze gye baabadde bawulidde baataayizza ababbi era ne bakwatako omu.

Mu kubataayiza, kigambibwa nti Kisuule ye yabadde n'emmundu era yakubye amasasi mangi mu bbanga okusaggula ekkubo w'anaddukira, kyokka ate munne (eyabadde talina mmundu) abatuuze ne bamutaayiza ne bamukwata batandika okumukuba okutuusa poliisi lwe yazze n'emutaasa n'atwalibwa ku poliisi y'e Lugazi gy'amaze wiiki emu n'ekitundu okuva lwe yakwatiddwa abatuuze.

ENGERI GY'ABADDE AKWEKA EMMUNDU

Kisuule baamukutte n'emmundu ey'ekika kya AK47 era ng'alina n'amasasi 24 be ddu. Baamukwatidde ku kyalo Bukaaya mu Ggombolola y'e Busamuzi mu disitulikiti y'e Buvuma ku bizinga nga n'emmundu gy'abadde agikweka.

Abatuuze baategeezezza nti Kisuule abadde yafuna ekikapu ekinene, nga bw'aba alina olugendo oluwanvu gy'agenda, akwata ekidomola n'akituuza mu kikapu n'akyambalira ku mugongo n'atandika olugendo.

Emmundu yali yagiggyako ekikondo eky'emabega era nga yaddira ekidomola n'akisala waggulu, nga w'abadde ayisa emmundu era munda ng'ateekamu "ccacu" okubuzaabuza abantu nti atambulizaamu mmere ya bisolo.

 

Olumu nti abadde agenda n'ekidomola kino mu birabo by'emmere, n'akung'aanyizaamu emmere ebeera efisse okwongera okukakasa abatuuze nti ekidomola akitambulizaamu mmere ya bisolo.

Kisuule wadde abadde mu magye wabula era abadde alunda era awaka abadde alundirawo ebisolo, ekintu abamu ku batuuze kye baagambye nti abadde akyekwekamu abuzeebuze abantu nti gwe mulimu gw'aggyamu ensimbi.

Wadde mu UPDF babadde bamumanyi nga David Kisuule, wabula ku kitundu we baamukwatidde babadde bamumanyi nga David Mayambala era abatuuze balumiriza nti nakyo alabika yakikola mu bugenderevu okubuzaabuza bakamaabe bakaluubirirwe okumulondoola.

Poliisi bwe yamulondodde e Buvuma n'emukwata, yasoose kwegaana bya mmundu wabula poliisi bwe yamubuulidde byonna ebimukwatako n'ebyama bye yabadde emuzuddeko, n'agonda n'abakulembera okubatwala w'abadde akweka emmundu.

Abadde agikweka mu kasiko akaliraanye ennyumba w'abadde asula. Yali yasima ekinnya mw'abadde atuuza ekidomola kino ng'amaze okukisabika obulungi mu kaveera n'agiziika era nti abadde agiggyayo matumbibudde bw'aba alina w'agenda okulumba. Yabalaze n'ekikapu ekinene mw'abadde agitambuliza ng'agenda wala.

BATWALIBWA MU KKOOTI Y'AMAGYE

Munne eyakwatibwa abatuuze yasooka kutegeeza nti ye Rogers Mukaaya wabula oluvannyuma kyazuuse nga ye Julius Kisuule era nga naye muganda wa David Kisuule era nti bombi bajaasi.

Kyategeezeddwa nti poliisi bye yayogezza Julius Kisuule bye byayambye ennyo mu kukwata David Kisuule era byayambye ne mu kuzuula emmundu.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekya Ssezibwa Helen Butoto yagambye nti abasajja bombi baggyiddwa ku poliisi e Lugazi ne bakwasibwa eggye lya UPDF ne fayiro zaabwe era bagenda kuvunaanirwa mu kkooti y'amagye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....