TOP

Museveni azzeemu okulabula abali b'enguzic

Added 27th January 2020

Museveni azzeemu okulabula abali b'enguzi

 Pul ezidenti Museveni ng’alambula ennyiriri z’amaggye mu bikujjuko by’ameenunula ebyabadde e Ibanda ku Ssande.

Pul ezidenti Museveni ng’alambula ennyiriri z’amaggye mu bikujjuko by’ameenunula ebyabadde e Ibanda ku Ssande.

PULEZIDENTI Museveni agambye nti abakozi ba gavumenti abali b'enguzi kati be bafuuse emiziziko gy'okweyongera kw'amakolero mu ggwanga n'ategeeza nti agenda kubatega ebitimba bakwatibwe batwalibwe e Luzira.

Museveni yagambye nti abakozi bano basaba ba yinvesita enguzi nga bazze okutandika wano bizinensi, n'akunga ba yinvesita okuloopa abakozi ba gavumenti abali b'enguzi eri bambasada b'amawanga gye bava n'agamba nti gavumenti tejja kulonzalonza kubatega bitimba batwalibwe e Luzira.

Pulezidenti eyabadde ayogera mu Lungereza n'Orunyankole bakira olumu mwatabika Oluswayiri olutonotono bino yabyogeredde Ibanda mu bugwanjuba bwa Uganda ku mukolo gw'okukuza emyaka 34 bukya gavumenti ya NRM ejja mu buyinza.

Gwetabiddwako eyali Pulezidenti wa Tanzania, Jakaya Kikwete era abantu 95 baaweereddwa emidaali okubeebaza bye bakoledde eggwanga.

Yategeezezza nti, omuwendo gwa Bannayuganda abakolera mu makolero agawera 4,920 agali mu Uganda bawera 700,000. Ate abakola emirimu egyekuusa ku saayansi ne tekinologiya bawera 15,000 n'agamba nti, Bannayuganda obukadde nga bubiri bakola emirimu egiteekuusa ku bya bulimi na bulunzi.

Pulezidenti yazzeemu okukunga abantu okuva mu by'okulima emmere n'okulunda ebisolo eby'okulya kwokka n'agamba beenyigire ne mu by'okulima ey'okutunda bakole ku byetaago byabwe. Yabakuutidde okukuuma omutindo gw'ebintu bye balima bisobole okugenda mu butale naddala obw'ebweru. Yawadde eky'okulabirako nti, "E Misiri bahhamba baagala kasooli kyokka ekibatta wano kasooli obulungi bwe bukoma mu nnimiro.

Olumala okumukungula ate ne mumwanika mu ttaka n'afuna obuwuka'' Yakunze abantu okujjumbira okugula ebirimibwa n'okulundibwa wano kyongere okugaziya ku butale.

Yagambye nti Uganda efulumya amata agaweza liita obukadde 2,500 omwaka kyokka Bannayuganda banywako obukadde 800 bwokka olw'okuba abamu tebalina ssente zigagula.

Yannyonnyodde nti Munnayuganda abalirirwa nti anywa liita z'amata 60 omwaka kyokka ng'ekitongole ky'ensi yonna eky'ebyobulamu (WHO) kiwa amagezi omuntu anywe liita 180 omwaka asobole okuba n'amagumba n'amannyo amagumu.

Yagambye nti ebintu ebirala bingi omuli amatooke, kasooli, ssukaali birimibwa mu bungi kyokka ekizibu kya kufuna butale naddala ebweru. Museveni era yazzeemu okukunga Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b'amasomero abasaba fiizi ez'ekimpatiira mu masomero ga gavumenti agali mu nkola ya ‘Bonna basome' ne balemesa abayizi abanaku okusoma.

Kino yakyogeddeko ng'ekiremesa enkola y'okusomesa abaana b'abanaku n'agamba nti abantu naddala abakulembeze mu bitundu basaanye okumwegattako okukirwanyisa. Museveni era yategeezezza nti gavumenti egenda kwebuuza ku bantu ku ngeri gy'eyinza okwongera okutereezaamu enkola ya bonna basome.

Okutuuka ku bino kyaddiridde abantu okumuloopera nti waliwo abakulu b'amasomero ab'emitwe eminene abassaawo ebisale eby'ekimpatiira ne bagoba abayizi ba bonna basome ababa balemereddwa okuzisasula.

Abamu ku bakulembeze baamugambye nti obukiiko obugatta abazadde n'abasomesa mu masomero obumu butuuka nga tebwebuuzizza ne bussaawo ssente ez'ekimpatiira olwo abayizi abalemwa olumu ne babagoba mu masomero.

Eyali Pulezidenti wa Tanzania Jakaya Kikwete eyafugira emyaka 10 wakati wa December 2005 ne 2015 naye yayogedde by'amanyi ku Pulezidenti Museveni n'agamba nti yatandika okumumanya ng'asomera ku yunivasite e Dar es Salaamu nga ye (Kikwete) akyasoma haya, n'amwegomba era amuyigiddeko bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...