TOP

Aba NRM bawonye okupangisa

Added 27th January 2020

Aba NRM bawonye okupangisa

 Pulezidenti Museveni ng’ayogera.

Pulezidenti Museveni ng’ayogera.

POLIISI ya Kampalamukadde eggalidde omusajja agambibwa okufera abantu ng'akozesa ofiisi ez'enjawulo n'abaggyako ensimbi. Christopher Kiddu 48, eyeeyita Polofeesa Kiddu omutuuze w'e Bulenga mu disitulikiti y'e Wakiso ye yakwatiddwa oluvannyuma lw'okufera abantu.

Abamu ku bantu be yafera kuliko Edith Nambiribwa. Kigambibwa nti mu mwezi July, 2019, yamuggyako ssente ezisukka mu1,000,000/- n'amulimba nti akola mu KCCA. Yamusuubiza okumufunira omulimu ogw'obuwandiisi kyokka kyamubuukako bwe yatuuka ku KCCA ne bamutegeeza nti Kiddu tebamumanyi.

Yamukubira essimu nga tagikwata n'amuloopa ku poliisi y'e Lungujja ne bamuggulako omusango gw'okufuna ssente mu lukujjukujju ku ffayiro nnamba SD 25/28/08/2019. Kigambibwa nti Kiddu yeeyambisa essimu ya Vicent Kamoga n'asaba abantu ssente.

Kamoga agamba nti mukwano gwe eyajja ne Kiddu ku wooteeri ya Tarvan Woods e Kabuusu ye yamumwanjulira. Wabula, baali bakyesanyusa Kiddu n'asaba Kamoga ku ssimu ye ng'amutegeeza nga bwe yali alina omuntu gwe yali ayagala okukubira ng'alina ebintu by'ayagala okumuwa.

Bwe yatwala essimu ye, alina kye yagikola era amasimu ga Kamoga nga y'agafuna. Yakozesa omukisa ogwo okusaba abantu ssente era abamu ku bantu abasindikira Kiddu ssente be baategeeza Kamoga. Kamoga yasalawo okugenda mu kkampuni ya MTN n'akizuula nti essimu kwe baasindikanga ssente yali ya Kiddu.

Kamoga yaddukira ku poliisi y'e Lubaga ne bakwata Kiddu ne bamugulako omusango gw'okukozesa obubi kkompyuta ku ssimu ye ku ffayiro nnamba SD:06/21/01/2020 era kati akuumirwa ku poliisi ya Old Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...