TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte ssemaka atemye munne n'okwokya ppikippiki

Poliisi ekutte ssemaka atemye munne n'okwokya ppikippiki

Added 27th January 2020

Poliisi ekutte ssemaka atemye munne n’okwokya ppikippiki

POLIISI ekutte ssemaka n'emuggalira lwa kutwalira mateeka mu ngalo n'atema omutu n'okwokya ppikippiki ng'entabwe eva ku nkaayana za ttaka.

Jamadah Kintu 55, ye yakwatiddwa nga mutuuze w'e Nswanjere mu ggombolola y'e Muduuma mu disitulikiti y'e Mpigi ku bigambibwa nti yakkakkanye ku ppikippiki ya Peter Kirabira nnamba UEB 501A n'agiteekera omuliro n'okutema Habert Ssekitto ng'amulumiriza nti yamusanze mu kibira ng'atema emiti gya kalittunsi.

Kintu eyaliko ssentebe w'ababoodabooda b'e Muduuma abeegattira mu kibiina kya Twajjabaseka Bodaboda Group okukwatibwa kyaddiridde okugobwa ku bwassentebe bw'ekibiina kino nga bamulumiriza okwezza ebintu by'ekibiina okuli n'ekibira kya kalittunsi era ne yeewera nti waakufaafaagana n'omuntu gw'alikwatira mu kibira kye, aba boodabooda kye bawakanya.

Wano Kintu yataayizza abasajja abaabadde basala emiti gye baaguze ku beekibiina kya boodabooda n'atemako omu ku mukono kyokka bwe baamwesimattuddeko ne badduka olwo n'ateekera ppikippiki yaabwe omuliro n'eteta n'eggwaawo.

Aba boodabooda olwabitegedde baavudde mu mbeera ne balumba Kintu okumugajambula kyokka poliisi y'e Jjeza n'ebatebuka n'emukwata n'atwalibwa mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi gy'akyaggaliddwa ku misango gy'okutwalira amateeka mu ngalo.

Ssentebe w'ekibiina kya Twajjabaseka Bodaboda Group, Jimmy Ssebwato alumirizza Kintu okwezza ebintu by'ekibiina kyabwe mu lukujjukujju n'asaba poliisi okumukangavvula asasule n'ebintu bya yayonoonye.

Kintu ng'atusiddwa ku poliisi byonna ebimwogerwako yabyegaanye n'ategeeza nti ekibira kikye kubanga yakipangisa ku kitongole ky'ebibira ekya NFA n'asimba emiti gye . Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Joseph Tulya agambye nti Kintu yagaliddwa abayambeko mu kubuuliriza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...