TOP

Baboye eddagala ly'ebirime ekkyaamu

Added 27th January 2020

Baboye eddagala ly’ebirime ekkyaamu

ABAMINISITULE y'ebyobulimi bazinzeeko amaduuka agatunda eddagala ly'ebirime n'ebisolo ne babowa eddagala erigambibwa obutabeera mu mateeka. Sylvia Nantongo Mutebi, okuva mu minisitule y'ebyobulimi obulunzi n'obuvubi ye yakulembedde ekikwekweto kino ng'ayambibwako poliisi.

Yagambye nti tebakyasobola kugumiikiriza bantu abatunda eddagala erikontana n'amateeka. Yayongeddeko nti eddagala lye basinga okunoonya kuliko eriteekebwa mu bucupa bwa mazzi ne baliguza abalimi.

Eddala kuliko lye bateeka mu bucupa obumaze okukozesebwa nga bukalu nga bakozesa empiso ez'abantu n'agamba nti eryo libeera kkyamu nnyo. Nantongo yagambye nti eddagala erisinga terikola kuba teririna kipimo kituufu, teryanoonyerezebwako era ne bwe liba likoze obulabe bwonna omulimi y'afiirwa.

"Ekituleese kwe kukebera omutindo gw'eddagala eritundibwa n'abalitunda bennyini okuba nga balina ebisaanyizo. Atunda eddagala alina okuba n'ebbaluwa emukkiriza okulitunda waakiri ng'alina satifikeeti mu byobulimi, Nantongo bwe yagambye.

Nantongo yalabudde nga bwe bagenda okuggala amaduuka gonna ge banaasanga nga gatunda eddagala ekkyamu ne bannyini go bavunaanibwe.

Yasabye abalimi okulekeraawo okugenda ku maduuka okubapimira eddagala n'abalabula okwegendereza eddagala lye bakozesa kubanga liyinza okukosa obulamu bwabwe obwabulijjo naddala mu kulitabula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...