TOP

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata

Added 27th January 2020

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata

OWA LDU akubye omutuuze essasi ku mukono abatuuze ne batabuka okukkakkana ng'aba LDU ne poliisi batutte akubiddwa mu ddwaaliro. Eyakubiddwa essasi ye Saleh Kinaalwa, omutuuze ku kyalo Matale Central mu ggombolola y'e Ngogwe mu disitulikiti y'e Buikwe.

Kinaalwa eyasangiddwa ku kitanda mu ddwaaliro e Kawolo gy'ajjanjabirwa, yagambye nti zaabadde ssaawa nga 4:00 ez'ekiro nga bali kumpi n'omudaala gw'ennyama w'akolera ye ne banne ne balaba ekibinja ky'abaserikale n'abantu abalala nga bajja we bali ne basooka okutya kyokka ne babivaako kuba tebaabadde na kye babeekengerako.

Agamba nti baabadde baagala okubatuukirira ne baagala babeesege omu kubaabaddeko n'agamba abaserikale mu Luswayiri nti " ndiyo wuyo" ekitegeeza nti ‘y'oyo' kwe kumusogamu emmundu ng'agezaako okudduka ne bamukuba essasi n'atuula.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y'e Buikwe, Alex Wabwire bw'atuukiriddwa agambye nti ensonga zimanyiddwa muduumizi w'aba LDU bo babadde tebannazimanya nnyo. Akulira aba LDU mu disitulikiti y'e Buikwe, Maj Joseph Mubunga, yakakasizza ebyabaddewo kyokka n'awakanya eky'okugamba nti aba LDU tebaabadde na ba poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba Ruparelia Foundation ba...

Ekibiina ky’obwanakyewa ekya ‘’Ruparelia Foundation’’ kidduukiridde abaana mu ddwaliro e Mulago bwe kiwaddeyo...

Donald Trump ne Biden bavum...

DONALD TRUMP, Pulezidenti wa Amerika, ne gwe bavuganya, Joe Biden bavumaganidde ku ttivvi bwe babadde bakubaganya...

Mao

MAO alangiridde okwesimbawo...

PULEZIDENTI wa DP Nobert Mao asekeredde abanene ba DP abaayabulidde ekibiina kino ne beegatta ku ky’omubaka Robert...

Chalemeon ng'awaga oluvannyuma lw'okumala okwewandiisa. Ebifaananyi bya STUART YIGA

Yadde mwannyimye kaadi naye...

Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleon, y'omu ku baasunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya...

Sodo ne Shartsi

Muwala wa Kuteesa agaanyi o...

Muwala wa minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa amanyiddwa nga Shartsi Musherure Nayebare agaanye okukkiriza...