TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Added 27th January 2020

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

 Abayizi nga babayigiriza okukozesa kompyuta.

Abayizi nga babayigiriza okukozesa kompyuta.

NEWANKUBADDE nga waabaddewo okujaganya kwa maanyi olw'ebigezo by'abayizi 695,804 ebyafulumizibwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, naye waliwo ne be byalese nga bennyise emitima bangi ddala omuli abasoba mu 60,000 abaabigwiridde ddala era abeetaaga okuddamu, ate n'abalala abasoba mu 50,000 abataafunye bifo mu masomero ga sekendule.

Omuwendo gw'abayizi abaagudde gweyongeredde ddala okuva ku bayizi 56,105 mu mwaka gwa 2018 okudda ku 66,152. UNEB eraze ebyesudde abayizi bano, amasomero n'abasomesa bye beetaaga okulongoosa omuli n'obunafu obutali bumu mu kuddamu ebigezo obwalagiddwa ne bukosa n'empita y'abaana.

EBYASINZE OKUSOOMOOZA ABAYIZI BA P7

Obutategeera kibuuzo Mu kugolola ebigezo by'abayizi eby'ekibiina ekyomusanvu, empapula z'abayizi abamu naddala mu ssomo lya SST, kyazuulibwa nga bano mu kifo ky'okuddamu ebibuuzo ebyali bibabuuziddwa, ate baasalangawo kujjuzaamu nga balaga nti ekibuuzo ekibabuuziddwa si kituufu. Kino kyabadde kiraga nti abayizi bano tebateekebwateekebwa kimala.

Okulemererwa kw'abayizi okweyambisa amagezi ag'omukibiina mu bintu ebya bulijjo Rose Mukasa Nabukenya akola ku by'ebibuuzo bya pulayimale mu UNEB yannyonnyodde nti kino kyeyolekedde nnyo mu kuddamu ebibuuzo ebibeetaagisa okukozesa amagezi ge babeera bafunye mu kibiina oba ebyo bye babasomesezza okugakwataganya mu mbeera eya bulijjo eba ebabuuziddwa mu kibuuzo. Bangi baalemeddwa okutaputa ebibuuzo mu butuufu bwabyo.

Kino kyasinze kibakosa mu kuddamu ebibuuzo by'Okubala n'Olunegereza. Okukusuwaza embuuza y'ebibuuzo Nabukenya agamba nti olwokuba abasomesa beemalira mu kusomesa abayizi okukusuwaza n'okukwata emiwendo mu ssomo ly'Okubala, ekibuuzo kye kimu bw'okizza mu bigambo oba emboozi, bangi kyabalemye okutaputa nti kye kibuuzo kye kimu kye bamanyi mu miwendo.

Okugeza omwana amanyi nti 5 x 5 = 25 bw'omugamba nti Mukasa yatambula mu maka ataano (5) nga mu buli maka bamuwaamu ente ttaano. Mukasa yafuna ente mmeka? Kino abayizi bangi baabadde tebasobola kukitaputa nti kye kimu ne 5 x 5.

Omusango baagutadde ku basomesa nti be baamanyiiza abayizi ensengeka y'ebibuuzo emu kale ng'ekibuuzo olukyukamu ng'olwo abayizi bakiraba nga ekipya nga n'abamu bagamba nti tekiriiyo.

Yakkaatiriza obwetaavu bw'okusomesa abayizi mu ngeri ezisukka mu emu ekiyamba okuzimba obuyiiya mu bayizi n'okubateekerateekera enkyukakyuka mu bigezo.

Abayizi okukusuwaza ebibasomeseddwa Okusinziira ku ngeri abayizi gye bazzeemu ebibuuzo, Nabukenya agamba nti abasomesa abasinga bwe bamala okusomesa, tebawa bayizi mukisa guteeka ebyo bye basomye mu mbeera eza bulijjo ekiremesa abayizi bano okutegeera bye babeera basomeseddwa era ng'eno y'ensonga lwaki ekibuuzo kye kimu kibabuuzibwa mu ngeri ez'enjawulo kyokka ne balemererwa okukiddamu.

Yawadde abasomesa amagezi nti buli luvannyuma lw'okusomesa omuyizi, omusomesa yandifuddeyo okuwa omwana omukisa okuteeka by'asomeseddwa mu nkola nga yeeyambisa ebimwetoolodde kimuyambe okukitegeerera ddala aleme kukyerabira. Okulemwa okutegeera kye basomye Abayizi bangi mu kifo ky'okuddamu ekibuuzo nga bw'akitegedde akiddamu nga omusomesa we bwe yamutendeka.

Waliwo obwetaavu bw'okuyamba abayizi okusoma okutegeera n'okunnyonnyola kye basomye. Kino agamba nti kyeyolekedde nyo mu bayizi bano okulemererwa okunnyonnyola ebyo bye batapuse mu bibuuzo ebibabuuziddwa mu ngeri gye babeera bategeddemu ekibuuzo era nga kino kyalemesezza bangi okuwa ebyokuddamu ebituufu.

Yagambye nti abayizi bangi tebaweebwa mukisa kusoma kusukka ku musomesa by'abeera abawadde ekintu ekiremesa obwongo bwabwe okugaziwa wamu n'okubeera abayiiya mu kuddamu ebibuuzo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...