TOP

Pass PLE addamu mu February

Added 27th January 2020

Pass PLE addamu mu February

 Abayizi ba Kitante Primary School nga bawuliriza ebibuuzo bya PASS PLE Quiz omwaka oguwedde.

Abayizi ba Kitante Primary School nga bawuliriza ebibuuzo bya PASS PLE Quiz omwaka oguwedde.

OKUVA nga February 3, 2020 Bukedde agenda kuddamu okufulumya akatabo ka PASS PLE buli Mmande omuyizi k'otasaanye kusubwa. Eno y'emu ku nteekateeka ya Bukedde okuyambako okusitula omutindo gw'ebyenjigiriza mu ggwanga.

Emyaka egisukka mu 10 Bukedde gy'amaze ng'afulumya akatabo ka PASS PLE ayongedde okumanya abayizi bye beetaaga era kuno kw'azimbira akatabo ka PASS PLE abayizi ke beenyumirizaamu olw'okubayamba okutegeera amasomo amazibu n'okwetegekera ebigezo bya PLE. Akatabo kasunsulwa abasomesa abalina obumanyirivu okuva mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo.

Mu kusomesa abasomesa bayita mu katabo kano aka PASS PLE akafuluma buli Mmande, okusomesa ebyo ebitera okukaluubirira abayizi ne babaweerako ebibuuzo omuyizi by'addamu okulaba oba by'asomye abitegedde bulungi. Okusomesa kuno kuyamba n'abo abatalina busobozi kwegulira bitabo ne beesomesa. Buli kimu baba bakinnyonnyodde bulungi.

Abasunsula akatabo kPASS PLE bawa abayizi ebibuuzo okuva mu masomo ag'enjawulo okuva mu bibiina ebyawansi omuyizi n'atandika okwegezaamu okuddamu ebibuuzo.

Kino kimuyamba okumanya engeri ebibuuzo gye biddibwamu n'okumumalako ekiwuggwe ky'ebigezo naddala eby'akamalirizo kubanga amanya bisunsuddwa omusomesa omulala atali amusomesa bulijjo.

Akatabo ka PASS PLE abayizi bakakozesa okukubaganya ebirowoozo. Mu ‘PASS PLE CLUBS' ezitondebwawo amasomero nga gayambibwako Bukedde. Entikko y'okukubaganya ebirowoozo kuno ebeera mu PASS PLE QUIZ abayizi beeyongera okuttaanya bye batannayiga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...