TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto kya UMEME e Kawempe

Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto kya UMEME e Kawempe

Added 28th January 2020

POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya eky’okubasalako amasannyalaze.

 Abatuuze nga badduka okwetegula ttiyaggaasi gwe baabakubyemu.

Abatuuze nga badduka okwetegula ttiyaggaasi gwe baabakubyemu.

Bya MOSES LEMISA
 
POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n'omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya eky'okubasalako amasannyalaze.
 
Ku Mmande, UMEME yakedde mu muluka gwa Makerere III n'ebitundu ebirala mu Kawempe okusalako abo bonna ababba amasannyalaze.
 
Abamu ku batuuze baakwatiddwa kyokka bwe kyatuuse mu zooni ya Kiggundu ne Good Hope, baabakanyugidde amayinja, ekyawalirizza poliisi okukuba amasasi mu bbanga n'omukka ogubalagala.
 
Embeera eno yatutte akaseera akawerako okudda mu nteeko oluvannyuma Frank Ayo, akulira poliisi y'oku Kaleerwe n'asaba abaakulidde ekikwekweto okukiyimiriza okusobola okutangira akeegugungo mu kitundu.
 wapoliisi ngatwala omu ku baakwatiddwa Owapoliisi ng'atwala omu ku baakwatiddwa.

 

 
Ssentebe wa Kiggundu zooni, Paul Kibuuka yategeezezza nti abatuuze ekyabaggye mu mbeera be bakozi ba UMEME okusalako n'amayumba agalina amasannyalaze mu butuufu.
Yagasseeko nti abakulira UMEME balina okusooka okutuula bakwate abakozi b'ekitongole abakolagana ne bakamyufu okubba amasannyalaze.
 
Yayongeddeko nti enkola y'ebikwekweto yeetaaga okukyusaamu, nti mu kifo ky'okukwata abapangisa bakwate bannannyini mayumba.
 
Yayongeddeko nti aba UMEME bwe baba bagenda mu bitundu, tebakolagana na bakulembeze kyokka embeera bw'ebatabukako nga balyoka babayita bakkakkanye abatuuze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...