TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu lukwe lw'okuwamba stage yaabwe

Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu lukwe lw'okuwamba stage yaabwe

Added 28th January 2020

Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu lukwe lw'okuwamba stage yaabwe

Aba takisi nga bali mu lukiiko

Aba takisi nga bali mu lukiiko

BA dereeva ba takisi  ku kaleerwe bagudde mu lukwe lw'okuwamba siteegi  yaabwe olwakoleddwa abaagobwa  olw'okubulankanya ssente ,ensonga bazitutte mu State House .

Ku Lwokuna ba dereeva b'oku siteegi e Nateete , Kaleerwe ,Bugerere Stage esangibwa mu ppaaka ya Kaleerwe Out Stand Stages baatuzizza olukiiko ku kkanisa ya Trinity oluvannyuma lw'okugwa mu lukwe lwe bagamba nti lwakoleddwa olukiiko olwagobwa olw'okubba ssente ezisoba mu bukadde 78 nga kati bateekateeka kwagala kudda ku bawamba.

Majid Lubega omumyuka wa ssentebe w'aba dereeva yategeezezza  nti  olukiiko olukadde lwali lukulemberwa Kintu Namuyimba  ng'ono kigambibwa yekobaana ne banne ne baggya ssente ezisoba mu bukadde 78  ku Account y'ekibiina ng'ensonga baazitwala ew'omubaka wa pulezidenti omugenzi Debora Nabukenya eyabaateeka ku nninga okuleeta embalirira ne balemererwa .

Yagasseeko nti Nabukenya ng'amaze okufa Namuyimba baasituula enkundi ne batandika okulumiriza Sulaiman Wasanyi nti yawamba siteegi ekitali kituufu ng'era bazze baddukira mu ofiisi ez'enjawulo ne poliisi ne babateekako ebisango ebyenjawulo okulaba nga babanafuya.

Yagambye nti Lwokutaano lwa wiiki ewedde Namuyimba yabaatwala mu State House gye yagambira nti ayagala kudda ku sitegeegi.

Yagasseeko nti omukyala wa State House Sandra yabasabye  baddeyo mu ba dereeva bababuulire nga bannaabwe bwe baagala okudda nga kino lwa kibabulidde baavudde mu mbeera nga bagamba tebasoboola kukirizza bantu abaabba ssente zaabwe kudda, kino baakikubyeko akalulu Namuyimba nafuna obululu  2 ate ba dereeva abawakanya olukiikolwe obutadda  ne bafuna obululu 150.

Olukiiko lwetabiddwamu  abakulu ba poliisi abaakulembeddwamu Danis Odoch Dpc w'e Kawempe , Robert Nagolo oc we Kanyanya , Ayo atwala poliisi y'oku kaleerwe , Diso w'e Kawempe n'abalala .

Odoch y'alabudde ba dereeva ba takisi  okukomya okukozesa ebiragalalagala ebiviridde obubenje okweyongera n'okuvumaganya  omulimu gwagwe olwe mpisa ensiwufu .

Rahid Ssekindi ssentebe w'ekibiina ekigatta siteegi za takisi mu kampala ekya KOTSA yagumizza ba dereeva nga bwe bagenda okukwatira awamu okulaba nga bayita mu mateeka okulwanirira omulimu gwaabwe ,  yagasseko nalumirizza abamu ku basirikale ba poliisi nga bwe balina akakwate n'ababbira mu takisi n'abasaba b'ekikwatako okukirwanyisa.

 NAMUYIMBA AYOGEDDE

Namuyimba yategeezezza bukedde ku ssimu nti oba ye tebamwagala kudda ku siteegi bakirize abalala abasoba 30 abaagobwa babakomyewo , yagasseko olukiiko mu state House baabalagira naye bamuyite abeere mu lukiiko naye tebaakikoze ku nsonga y'okwagala okuwamba yagambye nti balimba n'ebimwogerwako nti yabba ssente bya bulimba nga bw'ekiba kituufu lwaki tebamutwala mu tebamuvunaana .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.