TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okusaasaanya obutambi bw'okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw'okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Added 28th January 2020

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

 Mugwanya

Mugwanya

ABAGAMBIBWA okusaasaanya obutambi omuli omuvubuka anyumya nga bwe yali mu lukwe lw'okugezaako okutta omubaka Idah Erios Nantaba bamukanze n'addukira ewa akulira okunoonyereza mu ggwanga, Grace Akullo amuyambe.

Kiddiridde Nantaba okwekubira enduulu ewa Akullo. Nantaba yeewuunya lwaki omuntu asobola okwekwata ku katambi n'ategeeza nga bw'ali mu lukwe olumutta kyokka ne watabaawo kikolebwawo.

Yagambye nti ali mu kutiisibwatiisibwa nga n'obulamu bwe buli mu matigga. EBIRI MU BUTAMBI Omusajja eyeeyita Shafi k Mugwanya agamba nti yeetaba mu lukwe lw'okwagala okutta Nantaba olwagwa obutaka. Yagambye nti, olukwe baalutegeka nga lwakubeerawo nga March 30, 2019 era baali abantu basatu okwali:

Isaac Seremba eyava e South Africa nga bamuzaala Kamuli ne Ronald Ssebulime eyattibwa. Sseremba agambibwa okuleeta ddiiru, olwava e South Africa mu February mu 2019 yatuukira wa mukwano gwe Derrick Jumba Hassan e Mutukula gwe yali akola naye ddiiru z'ekika ekyo. Kyokka eby'embi, yamusanga baamusiba mu kkomera n'asalawo okukozesa mutabani we Shafi k Mugwanya.

Yategeezezza nti wadde omulimu guno yali tagusobola, yakkiriza olw'okutya okumutta ssinga agaana okukola kye baagala. Bakkaanya okutta Nantaba ng'ava mu maka ge agasangibwa e Kayunga era Seremba yawa Mugwanya emitwalo 50 n'oluvannyuma ne bamwongerayo 30. Mu kiseera ekyo Ssebulime yakubira maama w'eyali omubaka Cerinah Nebanda essimu n'amutegeeza nti be batta muwala we.

Yamusaba agambe Nantaba nti naye baali bagenda kumutta kyokka nga waaliwo omukisa gw'okumuleka ssinga boogera. Kyokka olunaku lw'okusimbula bwe lwatuuka Mugwanya eyali atidde misoni yabategeeza nga bwe yali omulwadde era ne bamuleka.

Bwatyo Seremba yasimbula ne Ssebulime nga y'amuvuga ku ppikipiki ate emmundu y'ekika kya AK 47 ne magaziiniz'emmundu bbiri nga babita- dde mu nsawo.

Kyokka wadde Mugwanya agamba nti olukwe baalukola April 30, Ssebulime baamutta April 24, 2019 ekiraga nti by'ayogera tebikwatagana.

MUGWANYA BY'AZZE YEEYOGERAKO

Mugwanya 26, yasooka kulabikako mu mawulire mu June w'omwaka oguwedde oluvannyuma lw'okwewaayo mumikono gy'ekitongole ekiketta mu ggwanga ekya ISO ng'agamba nti, yali mu bayeekera ba ADF era kitaawe, Derrick Jjumba ye yamuyingiizaayo ng'akyali mwana muto.

Kyokka teyavunaanibwa. Mu ISO yagendayo ne banne abalala babiri okuli Pascal Ndege ne Sharif Iga. Okuva mu June 2019, Mugwanya azze ayogera ku butemu obw'enjawulo bw'agamba nti azze abwenyigiramu naddala mu bitundu by'e Masaka n'emiriraano okutuuka ku nsalo ya Uganda ne Tanzania e Mutukula.

Mugwanya agamba nti, ffamire ye ejjudde ababbi n'abatemu nga yasooka kutegeeza nti y'omu ku baali mu ttemu ly'okuwamba n'okutta abawala e Ntebe n'e Nansana nga bakolera omugagga ne mayinja wa poliisi (amannya gasirikiddwa). Olulala yategeeza nga bwe yeenyigira mu ttemu eryenjawulo naddala mu bitundu by'e Masaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu