TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rev. Julius Matovu tetunnamwejjeereza - Namirembe

Rev. Julius Matovu tetunnamwejjeereza - Namirembe

Added 29th January 2020

Rev. Julius Matovu tetunnamwejjeereza - Namirembe

Rev. Kalende ng’ali ne Nabirye bwe 􀁃􀁂􀁂􀁔􀁊􀁔􀁊􀁏􀁌􀁂􀁏􀁂􀀃􀁎􀁖􀀃􀁐􀃶􀁊􀁔􀁊􀀃􀁚􀁂􀀃􀁎􀁊􀁏􀁊􀁔􀁊􀁕􀁂􀀃 Nakiwala ku nsonga z’omwana 􀁈􀁘􀀈􀁂􀁔􀁊􀁕􀁖􀁅􀁅􀁆􀀏 􀀳􀁆􀁗􀀏􀀃􀀫􀁖􀁍􀁊􀁖􀁔􀀃􀀮􀁂􀁕􀁐􀁗􀁖 Ennyonyi y’ekika kya

Rev. Kalende ng’ali ne Nabirye bwe 􀁃􀁂􀁂􀁔􀁊􀁔􀁊􀁏􀁌􀁂􀁏􀁂􀀃􀁎􀁖􀀃􀁐􀃶􀁊􀁔􀁊􀀃􀁚􀁂􀀃􀁎􀁊􀁏􀁊􀁔􀁊􀁕􀁂􀀃 Nakiwala ku nsonga z’omwana 􀁈􀁘􀀈􀁂􀁔􀁊􀁕􀁖􀁅􀁅􀁆􀀏 􀀳􀁆􀁗􀀏􀀃􀀫􀁖􀁍􀁊􀁖􀁔􀀃􀀮􀁂􀁕􀁐􀁗􀁖 Ennyonyi y’ekika kya

OBULABIRIZI bw'e Namirembe bunyweredde ku kye bwasalawo oluberyeberye okugira nga bawummuza abaawule ababiri Rev. Ronald Kalende ow'e Mwererwe ne Rev. Julius Matovu ow'e Jjungo ababadde bakaayana olw'omwana wa Perusi Nabirye, nga buli omu alumiriza munne nti ye nnyini mwana.

Ebyavudde mu kukebera omusaayi ku Mmande byakakasizza nti Rev. Kalende ye kitaawe w'omwana wa Nabirye era wano abagoberezi abamu we babadde balowooleza nti kino kyejjeerezza Rev. Matovu nti era ekkanisa eneemuddiramu.

Wabula omuwandiisi w'Obulabirizi bw'e Namirembe Can. Nelson Kaweesa yategeezezza Bukedde eggulo nti mu nkola y'Ekkanisa omusajja yenna tabeera na mukazi atali wuwe. "Oba wamufunyisa olubuto oba nedda yo ekkanisa esigala ekivumirira.

Okubayimiriza, Ekkanisa teyasinziira ku bya mwana wabula ekikolwa eky'obwenzi era okunoonyereza ku bwenzi kwo kukyagenda mu maaso, " Can. Kaweesa bwe yaggumizza Okutuuka okugenda okukebera omusaayi kyaddiridde Minisita w'abavubuka n'abaana Florence Nakiwala Kiyingi okuyita Kalende mu ofiisi ye nga January 7, 2020 n'akkiriza nti omwana wuwe era n'akkiriza okumuwa obuyambi bwa 200,000/- buli mwezi.

Kyokka olwavuddeyo, Kalende ate ne yeekyusiza mu kiti nga embazzi n'ategeeza nti baamukase okukkiriza omwana kwe kusalawo okugenda babakebere omusaayi. Bannaddiini bombi abaabadde basongebwamu ennwe; Rev. Kalende ne Rev. Matovu baabakebedde newankubadde nga bulijjo Nabirye annyonnyola nti Matovu amutwala nga kitaawe nti era talina nkolagana yonna naye mu nsonga z'omukwano.

Nabirye yategeezezza Bukedde nti obuyambi bwe baamusuubiza obwa 200,000/- baazimuwadde era ye talina buzibu na Kalende kugenda mu maaso ng'ali ne mukyalawe eyamwanjudde n'amukuba n'empeta ye (Nabirye) ayagala ekintu kimu kubeera nga bamuwa obuyambi bw'omwanawe.

Obuyambi obwa ssente 200,000/- Nabirye yategeezezza nti ziyita wa Ssaabadinkoni w'e Kazo, Rev. Kenneth Emmanuel Ssewannyana. Wabula agamba nti ssente z'afuna ntono tezisobola kumuyimirizaawo n'omwana we era bw'afuna amuwa omulimu ayagala akole

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...