TOP

Abakozi beefuulidde mukama waabwe ne bamutta

Added 30th January 2020

Abaamusse, baamusaze ensingo era omulambo ogwabadde gutandise okuvunda baagusiseeyo ng’ensingo eriko kaliba ka nkoto kokka ke kagiwaniridde.

 Abatuuze nga basitudde omulambo gwa Karangwa okugutwala mu ddwaaliro e Mulago. Mu katono ye Leticia muwala wa Karangwa

Abatuuze nga basitudde omulambo gwa Karangwa okugutwala mu ddwaaliro e Mulago. Mu katono ye Leticia muwala wa Karangwa

Bya WASSWA B. SSENTONGO

WAASOOKA kubaawo luyombo  olw'amaanyi ng'abakozi babanja  ssente zaabwe, wiiki ssatu eziyise.

Ekyaddiride be booluganda okuzuula omulambo gwa mukama w'abakozi bano nga gusaliddwa obulago nga guli mu kinnya kya kaabuyonjo.

Deo Kalangwa 65, abadde akozesa abakozi babiri, Emmanuel Ssendagire ne Amprey Murambizi era okuzuula omulambo gwe, abooluganda kyabatwalidde wiiki nnamba nga bamunoonya kyokka ng'abakozi be buli lunaku babagamba nti alinako w'alaze.

Moses Mubiru muliraanwa wa Karangwa yagambye nti, ajjukira nti wiiki ssatu eziyise, yawulira oluyombo ewa Karangwa ng'abakozi bamubanja ssente.

 arangwa nga bwabadde afaanana Karangwa nga bwabadde afaanana.

 



Teyamanya byaddirira okutuusa omulambo gwa Kalangwa lwe gwasangiddwa
mu kaabuyonjo y'awaka we.

Abaamusse, baamusaze ensingo era omulambo ogwabadde gutandise okuvunda baagusiseeyo ng'ensingo eriko kaliba ka nkoto kokka ke kagiwaniridde.

Omulambo gwa Kalangwa gwoleka obukambwe abatemu bwe baayolesezza
nga bamutta ate ne bamala omulambo ne bagusuula mu kaabuyonjo n'akayumba kaayo ne bakasuula ne kagibuutikira, okubuliza ddala obujulizi.

Ennyumba ya Kalangwa esangibwa wakati mu kibira kya kalittunsi ku kyalo Kayanga mu ggombolola y'e Nangabo e Wakiso.

Mu nnyumba ye, abadde abeeramu n'abakozi be abasajja babiri ababadde bamukubira bbulooka, okulima n'okulabirira ekibira kye ekya kalittunsi.

Abatuuze ku kyalo kino baategeezezza nti, Kalangwa yalina omukyala Regina Namayanja kyokka ne bafunamu obutakkaanya omukyala n'anobera ku mutala omulala.

Namayanja yagambye nti, emabegako abadde yagenda okulaba ku bba kyokka ne bamugamba nti yali taliiwo n'agezaako okumukubira essimu naye nga tagikwata era yavaayo tamulabye ekyaddiridde kumubikira nti yatemuddwa.

 

Mubiru yagasseeko nti, engeri ennyumba ya Kalangwa gye yeetooloddwa ekibira kya kalittunsi, kibaddenga kizibu okumanya oba gyali oba taliiyo ekireetedde abatemu
okumutta ne kitwala ebbanga nga tewali amanyi bimufaako.

Muwala wa Kalangwa, Leticia Faida yagambye nti, babadde bamaze wiiki nnamba nga banoonya kitaawe kyokka ng'abakozi be ababiri babagamba nti alinako w'alaze.

Yagambye nti, olunaku lwe yasooka okugenda ng'anoonya kitaawe, abakozi baamutegeeza nti, yali alinako w'alaze akomawo mangu. Agamba yalinda okusuula enjuba nga kitaawe takomawo olwo n'adda ewuwe.


"Bwe natuuka ewange nakuba ku ssimu ya taata nga teriiko, enkeera naddamu okugikubako nga kw'eri abakozi ne bagikwata ne bagamba nti yali agenze mu nnimiro." Leticia bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, kinkino, kyamuwaliriza okutandika okunoonyereza ekituufu ku kitaawe kubanga yali tamala nnaku ssatu nga tamukubidde ssimu.

Yategeeza abooluganda ne bakkiriziganya okutandika okumunoonya ku Lwokubiri lwa wiiki eno.

"Twabadde tulina ekirowoozo nti osanga yagwa mu batemu ne bamutta ne bamusuula eyo mu bisikosiko n'emigga." Leticia bwe yayongeddeko.

ENGERI GYE BAAZUDDE OMULAMBO;

Ku Lwokubiri baasazeewo okugenda okusamba ensiko kyokka baabadde baakasimbula, Leticia agamba nti yaguddemu ekidumusi n'asaba banne basooke bamulindeko amale okweyamba.

"Natuuse ku kaabuyonjo nga ndaba eguddemu naye ng'engwamu yaayo, eraga nti baasudde nsuule kwe kuyita bannange." bwe yategeezezza ng'eno amaziga bwe gamuyitamu.

Yayongeddeko nti, abalala baakungaanye era baagenze okwerula amaaso baagakubye ku ngatto za kitaabwe.

"Bwe nalabye engatto za kitange ekidumusi ne kiwona era twagenze okumaliriza okwerula ekifo, amaaso twagakubye ku bigere bya muntu ne tuyita poliisi." Leticia bwe yagasseeko.

Poliisi y'e Nangabo ng'eyambibwako abatuuze yaggyeeyo omulambo nga gwabadde mu mujoozi omuddugavu n'empale empanvu nga nayo nzirugavu.


ABAKOZI BADDUSE;

Ssendagire ne Murambizi kati abanoonyezebwa ku by'okuttibwa kwa Kalangwa bulijjo abantu babalaba ku kyalo nga batambula wabula olwategedde nti, abafamire bajja okunoonya mukama waabwe ne badduka.

Ebintu byonna Kalangwa by'abadde nabyo mu nnyumba,babadde baabitunda nga
ne kalittunsi batandise okumutunda.

Ebikwata ku bakozi bano bombi, byewuunyisa, Murambizi abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera e Luzira gy'abadde amaze omwaka mulamba ku misango gy'okubba ebintu by'abatuuze okuli emizindaalo n'embuzi.

Ate Ssendagire, omugenzi kigambibwa nti yali yamugoba dda olw'okumubbira ebintu
kyokka nga tagenda era olwatadde Murambizi ne baddamu okukwatagana.

Hassan Kigozi Sempala akulira ebyokwerinda mu kitundu yagambye nti, abakozi okudduka ne batakwatibwa kyavudde ku batuuze buteefiirayo kumanya bikwata ku
mutuuze munnaabwe gwe babadde tebakyalaba.

"Abavubuka bano ebbanga lyonna babadde ku kitundu nga bayinaayina ne watabeerawo muntu yenna afaayo nti mukama waabwe takyalabika!" Sempala bwe
yagambye.

Atwala poliisi y'e Namalere, Brian Kagaju yagambye nti, bagguddewo fayiro y'obutemu SD05/28/01/2020 ng'okuyigga abateeberezebwa okubeera abatemu bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...