TOP

Omusajja ayidde poliisi n'ekwata muganzi we

Added 30th January 2020

OMUVUZI wa bboodabbooda Everest Kasigazi abadde avugira ku siteegi ya New Vision ku Jinja Road ajjiiridde mu nnyumba mu kiro ekyakeesezza ku Ssande oluvannyuma n’akwasa muganzi we Evelyn Kebiringi gw’abadde yaakaganza emyezi mukaaga gyokka.

 Kasigazi eyafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu.

Kasigazi eyafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu.

Bya MADINAH NALWANGA
 
OMUVUZI wa bboodabbooda Everest Kasigazi abadde avugira ku siteegi ya New Vision ku Jinja Road ajjiiridde mu nnyumba mu kiro ekyakeesezza ku Ssande oluvannyuma n'akwasa muganzi we Evelyn Kebiringi gw'abadde yaakaganza emyezi mukaaga gyokka.
 
Okusinziira ku baliraanwa bino byabaddewo ku ssaawa nga 6:30 ez'ekiro ekyakeesa ku Ssande omuliro bwe gwakwata omuzigo gwa Kasigazi gw'apangisa kyokka muganzi we n'abaana be yajja nabo mu bufumbo ne batafuna wadde obuvune wadde nga basula mu nnyumba emu eyo eyayidde.
 
Alexander Taskei muliraanwa eyasooka okudduukirira era eyatwala Kasigazi mu ddwaaliro, yategeezezza nti, olwawulidde omuliro n'azuukuka okudduukira n'akwata Kasigazi eyabadde ayidde okumutwala mu ddwaaliro e Kiruddu gye yafiiridde.
 
Agambye nti abasawo olwabuuzizza omukazi ekyavuddeko omuliro okwokya omuntu omu yekka, yagambye nti mu ntebe mwabaddemu akadomola ka peetulooli era ng'omuliro gwatandikidde mu ntebe n'alabula bba asooke ofulumye ppikippiki n'abaana naye n'afuluma.
 
 ebirungi Kebirungi

 

Yazzeeyo okununula endagaano ze kwe yagulira ettaka awo peetulooli n'abaluka n'amwokya yenna.
 
Taskei agamba nti ekyewuunyisa bwe yaatuuse mu ddwaaliro yabadde ayambadde mu kaleega akaddugavu nga kalimu ebinusu bya 2,000/-, akapale akaddugavu ke baakazaako erya ‘legingi' ne bbulawuzi eya jjiini nga bbulu ate ye nga muganzi we yabadde bukunya ne yeewuunya omuntu eyabadde yeebase ne bba mu ttumbi gy'asobola okubeera mu mbeera eyo.
 
Baamubuuzizza oba alina abantu be b'amanyi nga talina okuggyako okukisuubira nti, bayinza okuba nga babeera Bushenyi. Wabula muwala wa Kasigazi omukulu bwe yazze n'amukuba akaama nga tannafa, kwe kulagira poliisi e Kirudde ku ddwaliro bakwate Kebirungi era eno gye yaggyiddwa n'azzibwa ku poliisi ya Divizoni y'e Kira gy'akuumirwa.
 
Egimu ku mikwano gy'omugenzi gitegeezezza nti, yabadde ne ssente 900,000/- ate mu bbaala we yanyweredde omwenge, okusinziira ku ssentebe w'ekitundu Edrisa Byamukama agamba nti Kebirungi yalumbye bba mu bbaala ng'alina ennyondo n'okwekalaakaasa nti, obudde obwo bwabadde bubwe (Kebirungi) badde mangu awaka.
 
Bba bwe mu kugezaako okumuwooyawooya yamugulidde eccupa n'akkakkana. Bongerako nti, bwe bazze awaka omusajja yasigaddewo ate omukazi ne bamulabako ku ssaawa 5:30 ez'ekiro ng'ali n'omusajja omulala ate waayise akaseera katono omuliro ne gwokya ennyumba yaabwe abalala bonna abagisulamu ne basimattuka okuli ne ppikippiki.
 
Omu ku baganda b'omugenzi yagambye nti, basibuka Ibanda ku kyalo Isongoro nti, Kebiringi alina abaana babiri ng'asooka ekyatta kitaawe tekyategeerekeka ate ow'omwana owookubiri ye mulamu ate gw'abadde yaakafumbirwa naye afudde!
 
Baamugguddeko ogw'obutemu ku fayiro nnamba CRB: 031/2020 ku poliisi e Kira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...