TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo ekoze endagaano ne Gavumenti okutumbula ebyobulamu

Mmengo ekoze endagaano ne Gavumenti okutumbula ebyobulamu

Added 31st January 2020

MMENGO ekoze endagaano ne gavumenti ya wakati okutumbula ebyobulamu mu bantu nga ya myaka etaano.

 Katikkiro Mayiga (owookusatu ku ddyo) abaavudde mu Gavumenti eya wakati n’ab’e Mmengo.

Katikkiro Mayiga (owookusatu ku ddyo) abaavudde mu Gavumenti eya wakati n’ab’e Mmengo.

 
Bya DICKSON KULUMBA


MMENGO ekoze endagaano ne  gavumenti ya wakati okutumbula ebyobulamu mu bantu nga ya myaka etaano.

Bagenda kulwanyisa endwadde ezisinga okubeera ez'obulabe eri Bannayuganda nga
mukennenya.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga oluvannyuma lw'okuteeka omukono ku ndagaano eno ku lw'Obwakabaka yategeezezza nti ebyobulamu biri mu kifo kya ku mwanjo ddala gye bali ng'era ekikulu mu ndagaano eno bagenda kufuba okumanyisa
abantu ku ngeri gye bayinza okwewalamu endwadde.

"Tetusobola kuzza Buganda ku ntikko ng'abantu balwadde, Bannayuganda tebayinza kubeera yaddeyadde mu byenfuna nga balwadde.

Endagaano eno gye tutaddeko emikono olwaleero eruubirira okusaawo omukago
ogw'okulwanyisa endwadde ezisinga okukwata omuntu wa bulijjo nga mukennenya," Mayiga bwe yategeezezza.

Omukolo guno gwabadde Bulange - Mmengo nga gavumenti eya wakati yakikiriddwa Dr. Richard Kabanda, kamisona avunaanyizibwa ku kubunyisa amawulire
ku kulwanyisa endwadde mu minisitule y'ebyobulamu nga naye yataddeko omukono ng'agatta ku gw'omuwandiisi w'enkalakalira, Dr. Diana Atwine.

Omumbejja Joan Nassolo ne baminisita baabaddewo.

Ku mukolo gwe gumu, Mayiga kwe yatongozza olukiiko olugenda okutegeka emikolo gy'amazaalibwa ga Kabaka nga lukulirwa Minisita w'ensonga z'enkizo e Mmengo,
Daudi Mpanga ng'amyukibwa minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu e Mmengo
Joseph Kawuki. Kuliko n'Omwami w'essaza ly'e Kyaddondo Agnes Nakibirige Sempa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...