TOP

Odonga Otto atenda eng'uumi eyamukubiddwa

Added 31st January 2020

OMUBAKA w’esaza ly’e Aruu mu Palamenti alojja “enguumi musosola ndaggu’’ eyamukubiddwa mubaka munne Anthony Akol (Kilak) n’emusuula ku ttaka bwe baafunye obutakkaanya ku nsonga z’ettaka ly’omu kitundu kya Acholi gye bava.

 Odonga Otto.

Odonga Otto.

Bya MUSASI WAFFE

OMUBAKA w'esaza ly'e Aruu mu Palamenti alojja "enguumi musosola ndaggu'' eyamukubiddwa mubaka munne Anthony Akol (Kilak) n'emusuula ku ttaka bwe baafunye obutakkaanya ku nsonga z'ettaka ly'omu kitundu kya Acholi gye bava.

Katemba ono atali musasulire yabadde mu Palamanti ku ssaawa nga 9:00 ez'olweggulo, omumyuka wa sipiika Jacob Oulanya bwe yabadde agenda okukukubiriza olutuula lwa palamenti.

Abeerabiddeko baagambye nti Otto yakubiddwa oluyi erwamukubye ekiggwo n'oluvannyuma n'atwalibwa mu ddwaaliro e Nakasero.

Ababaka baasoose kwogeraganyaamu e munnaabwe Lindro Komakeck akiikirira ekibuga Gulu era baabadde boogera Lucholi.

Era mu kwogeraganya kuno, Akol yafunye obusungu n'atandika okukuba Odonga Otto
empi n'enguumi n'agwa wansi.


Otto olwasituse yakutte katebe n'agoba Akol akamukube kyokka abaserikale abakuuma Oulanya ne bamulemesa. Akol yayingidde mu palamenti munda'


Akol alumiriza Otto nti yagenda mu kitundu ky'akiikirira e Kilak n'amusiiga enziro nti aliko ssente obukadde 300 ze yafuna mu ttaka ly'Abacholi eryatundibwa mu Amuru n'azezibika.

Era nti Otto gavumenti emupokera ensimbi asuule ababaka ba palamenti ab'oludda oluvuganya abava mu Acholi.

Kyokka yeegaanyi eby'okukuba Otto ekikonde n'agamba nti yamukubye luyi kuba singa kyabadde kikonde Otto singa z'embuyaga ezikaza engole.

Kyokka Otto yagambye nti baamukubye hhuumi ku liiso erya kkono. Era eriiso n'oluba ne luzimba n'agenda mu ddwaliro.

N'agamba nti ensonga agenda kuziroopa wa sipiika zitwalibwe mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...