TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri takisi gye yakoze akabenje n'egoya abaana b'essomero

Engeri takisi gye yakoze akabenje n'egoya abaana b'essomero

Added 5th February 2020

Engeri takisi gye yakoze akabenje n'egoya abaana b'essomero

OMUNTU omu afiiriddewo mbulaga ate abalala 22 ne batwalibwa mu ddwaaliro e Jinja nga biwalattaka mmotoka mwe baabadde batambulira bw'etomeraganye ne loole ebadde ettise emifaliso.

Akabenje kano, kaaguddewo eggulo ku makya nga busaasaana e Bulumagi mu ggombolola y'e Njeru mu disitulikiti y'e Buikwe ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala.

Ttakisi nnamba UAG 195C eyabadde eva e Bukungu - Kidera mu disitulikiti y'e Buyende ng'etisse abantu 22, ye yatomeraganye ne loole Fuso nnamba UAQ 310E y'abadde etwala emifaliso e Jinja.

Mary Ajuma omu ku baabadde mu takisi yategeezezza nti, baasimbudde e Kidera ku ssaawa 7:00 ez'ekiro wabula mmotoka yabadde ettise nnyo ne bambalagana ne Fuso eyabadde eyisa tuleera.

Ajuma mu mmotoka yabaddemu n'abaana be bana nga bagenda Kawempe. Yagambye nti, mwabaddemu n'abaana abaabadde badda ku masomero ag'enjawulo mu Kampala. Aduumira polisi y'ebidduka mu bitundu bya Ssezzibwa, Israel Wambesyo yagambye nti tebannakakasa kituufu kyavuddeko kabenje era bakyagezaako okunoonya ddereeva wa Fuso abannyonnyole ekyabaddewo.

Yagasseeko nti, eyafudde ye Sanon Kinobe 37 abadde ddereeva wa takisi era ng'ono, abadduukirize beeyambisizza mbazzi okumuggya mu mmotoka. Abaasimattuse bali 22 era nga ku bano kuliko; abaana 11 n'abakulu 11 era bonna bali mu ddwaaliro e Jinja gye bajjanjabirwa.

Abaalumiziddwa ye; Ruth Nassanga 25, Daria Tasigawo 13, Restol Sande 15, Joseph Mukasa 15, Eric Kalulu 47, Agnes Naluwoba14, Maria Nagujjo 6, David Nsamba13, Mary Ajuma 26, Alvin Kasagga 1, Lydia Nahirwa 3, Fred Mwami 50, Beatrice Nakayingo 9, Basasa Mathew 7, Nakalyango Prisca 17 ne Ernest Bombokka 29.

Omwogezi wa polisi mu bitundu bya Ssezzibwa, Hellen Butoto yagambye nti, takisi yabadde ettise kabindo era n'asaba abantu obutakkiriza kubatikka kabindo. Emmotoka ezaakoze akabenje zaatwaliddwa ku polisi y'e Njeru ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...

Biden n'embwa ye.

Biden aleese embwa ze mu Wh...

JOE Biden 78, akomezzaawo akalombolombo ka bapulezidenti ba Amerika ne ffamire zaabwe okubeera n'embwa oba ebisolo...

Abakyala nga basanyukira Ashraf Nasser owa NRM awangudde ekya meeya wa jinja Southern division.

Owa NRM awangudde obwameeya...

ASHRAF Nasser ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) awangudde ekifo kya Meeya wa Jinja Southern Division....

Nakidde n'abawagizi be nga b'atabuse.

Bamuwadde fotokopi eriko eb...

Wabaddewo olutalo mu kulangirira obululu mu zooni ya Kironde e Kabowa,  mu munisipaali y'e Lubaga, omu ku beesimbyewo...