TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatemu bawambye omuwala ng'agenda mu katale ne bamutta

Abatemu bawambye omuwala ng'agenda mu katale ne bamutta

Added 5th February 2020

Abatemu bawambye omuwala ng'agenda mu katale ne bamutta

 Kebirungi, ssenga w’omugenzi (ku ddyo) eyakwatiddwa ng’ali ku kabangali okuli omulambo.

Kebirungi, ssenga w’omugenzi (ku ddyo) eyakwatiddwa ng’ali ku kabangali okuli omulambo.

ABATEMU abasse omuwala e Kasubi, baamuteeze agenda mu katale okugula obummonde ne muwogo ne bamuwamba ne bamusobyako kirindi ne bamutta omulambo ne bagusuula mu lusaalu.

Asanti Arinaitwe 15, omulambo gwe gwasangiddwa nga guli bute nga guliko enkwagulo mu mugongo, ku lubuto n'ebitundu bye ebyekyama. Omugenzi yabula ku Lwamukaaga lwa wiiki ewedde ng'agenda mu katale okugula obummonde ne muwogo bye baali bagenda okusiika akawungeezi mu Kikoni e Makerere w'abadde akolera ne ssenga we.

Ssenga we, Sarah Kebirungi poliisi gwe yasoose okukwata agiyambeko mu kunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku muwala we gwe yabadde yaakaggya mu kyalo e Hoima.

Kyokka bwe baabadde tebannamukwata, yategeezezza nti, ku Lwomukaaga ku ssaawa nga 1:30 ez'oku makya, yawadde Arinaitwe 10,000/- n'amutuma okugula ebintu bye baabadde bagenda okukozesa akawungeezi.

Yagambye nti, baamulinze nga tadda ne basooka balowooza nti oba yabadde alina we yabadde akyayimiridde kyokka baalabye obudde bugenderera kwe kusalawo okumunoonya.

Yagasseeko nti, baamunoonyezza n'abula ne bafuna n'ow'ekizindaalo n'atalaaga ekyalo kyonna nga bw'alanga era bwe bakakkasizza nti ddala abuze kwe kutegeeza poliisi ne baggulawo omusango gw'okubula kw'omuntu ku fayiro nnamba SD:08/01/02/2020.

ENGERI GYE BAAZUDDE OMULAMBO

Ku Mmande, babbulooka b'ettaka abaabadde batutte abagagga okulambula ettaka eryabadde litundibwa mu zzooni II e Kasubi, be baalabye omulambo ogwabadde teguli mu ngoye mu lusaalu okuliraana essomero lya Campus High SS.

Baatemezza ku bakulembeze mu kitundu era Kebirungi yagambye nti, baamuyise alabe omulambo ogwabadde guzuuliddwa oba gwe gwa muwala we gwabadde anoonya okuva ku Lwomukaaga. "Olukubye amaaso ku mulambo n'enjoka ne zinsaanuuka, mpulidde nga mpunze nzigwerera nzigwawo," Kebirungi bwe yagambye.

Arinaitwe, yava mu kyalo nga December 28, 2019 n'ajja ewa Kebirungi e Makerere - Kikoni okumulabako era babadde bakola bombi ku mudaala gw'ebyokulya Kebirungi byasiika mu kitundu kino.

ABAAMUSSE BAAMUWALUDDE OKUVA KU KKUBO

Omulambo gwa Arinaitwe gwasangiddwa nga gugalamiziddwa kyabugazi nga n'olususu lw'omugongo luliko ebikuyiro okufaanaana ng'omuntu eyakuluddwa ku luyinja. Ku kkubo erikyama okuyingira akasiko we baasanze omulambo, waasangiddwawo obugatto Arinaitwe bwe yabaddemu ng'ava awaka.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango yagambye nti Kebirungi yakwatiddwa poliiisi asobole okugiyambako mu kunoonyereza nga bwe balinze lipooti y'abasawo okuva mu ddwaaliro e Mulago gye baatutte omulambo.

Abatuuze mu kitundu nga bakulembeddwa ssentebe w'omuluka gw' e Kasubi, Peter Tamale baalazze obwennyamivu olw'omuntu okuttibwa mu kitundu kino n'ebikolwa eby'ettemu ebiyitiridde mu kifo kino . Ettemu erisusse, Tamale yalitadde ku bavubuka abatayagala kukola n'okukozesa ebiragalalagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...