TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obujulizi bw'embwa busibisizza abafumbo emyaka 25

Obujulizi bw'embwa busibisizza abafumbo emyaka 25

Added 5th February 2020

Obujulizi bw’embwa busibisizza abafumbo emyaka 25

 Justine Mpamulungi ng’akaaba oluvannyuma lw’okusalirwa omusango.

Justine Mpamulungi ng’akaaba oluvannyuma lw’okusalirwa omusango.

OBUJULIZI bw'embwa ya poliisi kkooti bwe yeesigamyeko n'esingisa abafumbo omusongo gw'okutta omuntu ne basibibwa emyaka 25.

Omuserikale wa poliisi e Kawempe, Felix Okello ye yawadde obujulizi nga yeesigama ku byazuulibwa embwa ekonga olusu. Jenipher Namuwonge 31, yattibwa 2017 yali abeera mu Katoogo zooni e Bwaise mu muluka gwa Makerere III, omulambo gwe ne bagusuula mu luguudo mu zooni ya St. Francis nga guli bukunya.

Omulamuzi Anthony Ojok olwatyemudde omusango, abafumbo ne batandikirawo okukaaba. Okello yategeezezza Omulamuzi mu Kkooti Enkulu e Nakawa nti bwe baamutegeeza ku ttemu lino, yagenda n'embwa mu kifo awaali obutemu buno n'ewunya ku mulambo olwo n'eryoka ebakunguzza nga bagenda bagigoberera okutuuka mu maka ga Jonathan Mazuku 35 ne mukyala we, Justine Mpamulungi 26. Yayita ku mayumba mangi agali mu kifo ekyo.

Baakebera mu nnyumba ya Mazuku ne baggyamu ebigatto ebyaliko ebintu ebyefaanaanyiriza omusaayi ne sikaati eyaliko ettaka era bino byonna Mazuku ne Mpamulungi baabiteekako omukono nti babiggye mu nnyumba yaabwe era embwa yatuula okumpi ne Mazuku.

Engoye n'ebigatto byatwalibwa e Wandegeya mu tterekero ly'omusaayi erya Gavumenti ne bikeberebwa era ne bazuula nga waliwo ebyali bikwatagana n'ebintu bye baasanga ku mulambo.

Omulamuzi Ojok yagambye nti mumativu n'obujulizi bwa poliisi kubanga Okello yategeeza kkooti nga bwe yatendekebwa okukozesa embwa mu misango gino nga yalina obumanyirivu bwa myaka 11 era n'obujulizi bwonna baserikale banne bwe baaleeta bwali bukwatagana.

Yagambye nti mu kifo ekyo mwalimu amayumba mangi naye embwa yakonga olusu n'egenda mu maka gaabwe ekitegeeza nti be bazza omusango guno n'ategeeza nga bwe gubasinze era wano Mpamulungi atandikiddewo okukaaba. Omulamuzi yamugambye nti yategeera ekituufu kyokka n'asirika.

Omusango guno Mazuku ne Mpamulungi n'abalala abatannakwatibwa baaguzza nga August,16, 2017. Wabula omulamuzi Ojok yalagidde baggyibweko emyezi mukaaga gye baamala ku limanda bwe batyo nga baakumalayo emyaka 24 n'emyezi 6. Mazuku ne Mpamulungi babadde bawoza bava wabweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.