
Chameleone ng'akwasa maneja we Robert Jackson Nkuke amanyiddwa nga Mutima ekisumuluzo ky'emmotoka gye yamugulira gye buvuddeko.
Bya Martin Ndijjo
Robert Nkuke abasinga gwe bamanyi nga Mutima abadde maneja w'omuyimbi Jose Chameleone avuddeyo ku kya maneja wa Leone Island omupya eyayanjuddwa.
Asekeredde abagamba nti yagobeddwa abagambye nti "Nze ndi kakonge ka ku kkubo an'ekoonako y'agwa" olumaze nagattako nti "ninga nkulungo abajja be beetoloola ne bandekawo…"
Mutima okwogera bino kiddiridde omuyimbi Jose Chameleone ku Lwokubiri okwanjulira eggwanga mwana muwala, Fortunate Bijou amanyiddwa nga Bijou nga maneja we omupya era agamba amusuubiramu bingi omuli n'okwongera okusituula erinnya ly'omuyimbi n'ekibiina kya Leone Island. Chameleone ne maneja we omupya, Bijou eyasikidde Mutima.
Ng'ayogera ku Mutima n'abalala babadde akola nabbo, Chameleone yagambye bano tebaatuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwabwe ate wabaddewo n'abafere bangi abeeyita ba maneja be ne babba abantu kati kye kiseera okufuna omuntu ategeera obulungi omulimu guno n'eky'okukola nga Bijou.
Wabula Mutima ye agamba aky'aliwo era akyakola ne Chameleone abalowooza nti yagobeddwa abagambye balindemu ekiseera kitono bajja kukakasa.
Okuva Chameleone lwe yawa Mutima obwa maneja bazze bafuna obutakkaanya ne batabuka ate oluvannyuma ne badding'aana era lumu yamulangako ne mu mpapula z'amawulire nga bwatakyali maneja we naye wayita mbale nga bazzeemu okukola bombi.