TOP

Sipiika ayulizza Trump empapula mu maaso

Added 6th February 2020

ABAABADDE balaba okwogera kwa Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump byabaweddeko Sipiika w’olukiiko lwa Congress bwe yakutte empapula okwabadde okwogera kwa Trump eri eggwanga ku mbeera eri mu ggwanga ne by’agenda okukola omwaka guno n’aziyuzaamu mu lujjudde! Omukolo guno guba gwa byafaayo mu Amerika nga guyitibwa ‘State of Union Address’ nga Pulezidenti mw’asinziira okutegeeza bannansi n’ababaka ba Congress by’atuuseeko mu mwaka omukadde ne by’azzaako.

 Trump, Pence (emabega ku kkono) ne Nancy ng’ayuza empapula.

Trump, Pence (emabega ku kkono) ne Nancy ng’ayuza empapula.

ABAABADDE balaba okwogera kwa Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump byabaweddeko Sipiika w'olukiiko lwa Congress bwe yakutte empapula okwabadde okwogera kwa Trump eri eggwanga ku mbeera eri mu ggwanga ne by'agenda okukola omwaka guno n'aziyuzaamu mu lujjudde! Omukolo guno guba gwa byafaayo mu Amerika nga guyitibwa ‘State of Union Address' nga Pulezidenti mw'asinziira okutegeeza bannansi n'ababaka ba Congress by'atuuseeko mu mwaka omukadde ne by'azzaako.

Abatunuulizi b'ebyobufuzi baalumbye Trump ne Sipiika Nancy Pelosi kubanga buli omu yaleebezza munne. Nancy Pelosi ow'ekibiina kya Democrat, Trump yasoose kumukuba ‘mwenda' bwe (Pelosi) bwe yamuwadde omukono okumwaniriza ku mukolo n'azira okugukwatamu n'abuuza balala.

Olwo ne Sipiika n'alindirira era obwedda Trump ayogera nga Pelosi aluma mba yadde okumutunuulira oba okukuba mu ngalo ng'abalala bwe baakoze.

Omulundi ogumu kkamera zaamulaze ng'anyeenya omutwe mu ngeri y'okunyooma n'okuwakanya okwogera kwa Trump mu ngeri egamba nti, "olimba...'. Trump bwe yabadde yeewaana bw'akoze ku nsonga y'ebyobulamu n'abagwira abayingira.

Kino Pelosi tekyamumalidde era Trump olwamalirizza okwogera n'akwata empapula okwabadde okwogera kwa Trump era nga Trump yennyini ye yazimukwasizza n'aziyuzaamu.

Oluvannyuma abaamawulire baabuuzizza Pelosi ekyamukozezza ekyo n'abaanukula nti, bw'ageraageranya ebintu bye yabadde asobola okukola mu kiseera ekyo okulaga Trump obutali bumativu bwe, yalabye ng'eky'okuyuzaamu okwogera kwe, kye kyabadde kisingako okukola mu byonna.

Eno ye yabadde entikko y'obutakkaanya wakati w'abakulu abibiri okuva Pelosi lwe yakulembera ekiwendo ekigoba Trump mu ntebe ng'ekisanja tekinnaggwaako ng'amulumiriza okukozesa obubi ofiisi n'okunyooma olukiiko lwa Congress olukulirwa Pelosi owa Democrat.

Trump yamulangirira nti y'omu ku balabe ba Amerika abasooka olw'okukola emirimu gye mu ngeri ya gadibyengalye. Wabula ababaka ba Republican abaabadde mu lukiiko bonna awatali kwekutulamu nga bakulembeddwa Mike Pence omumyuka wa Trump mu ngeri ey'okusuutiriza obwedda buli Trump lw'aggusa ensonga nga bonna basituka nga bwe basaakaanya ne bakubaa mu ngalo nti, oyogedde bulungi ssebo bakwongere emyaka emirala ena.

Okulonda kwa kubaawo November, 2020 ate ebula nnaku bunaku okukuba akalulu akasembayo okumuggyamu obwesige oba okumuleka mu ntebe kyokka ng'asuubirwa okukawuuta obuva. Nga gwe mulundi gwe ogwokusatu okukola okwogera okw'ekika kino, Trump yayogedde ku byenfuna, ebyobufuzi, ebyokwerinda ne kalonda omulala agenda mu maaso mu ggwanga eryo.

Kyokka ne ku ludda lw'ekibiina kya Democrats abakazi bazze bambadde yunifoomu enjeru (okuli ne Pelosi) gwabadde mugano nga Trump ayogera kyokka nga bo bakuba mbekuulo okumulemesa.

POLIISI erangiredde ebikwekweto okufuuza baddereeva b'ebidduka abamenya amateeka ku nguudo n'abaziteekako ebintu ebitakkirizibwa omuli ebitaala n'obugombe okuggula ekkubo.

Kino kiddiridde olukiiko lwa poliisi olw'oku ntikko okutuula ku Lwokusatu ne lulagira ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka okukola ekikwekweto ku baddereva bonna abamenya amateeka ku nguudo ne mmotoka zonna eziriko ebintu ebitakkirizibwa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye yagambye nti, poliisi yakizudde waliwo baddereeva abamenya amateeka omuli okuvugira mu bifo ebitakkirizibwamu, okuteeka obugombe ku mmotoka okwesaggulira ekkubo, amataala agalina okubeera ku mmotoka z'ebyokwerinda n'ebirala nti, bagenda kukwatibwa bavunaanibwe mu kkooti baggalirwe oba okuwa engassi.

EBIBUUZO by'amatendekero g'ebyemikono mu ggwanga, ebyakolebwa mu November ne December wa 2019, bifulumizibwa ku Lwakutaano lwa wiiki eno.

Narasi Kambaho, omwogezi w'ekitongole kya Uganda Business and Technical Examinations Board (UBTEB) ekitegeka ebibuuzo by'amatendekero g'ebyemikono mu ggwanga agamba nti, ebibuuzo bino bye byomutendera gwa; Uganda Community Polytechnics and Advanced Crafts.

Agambye nti, "Tumalirizza byonna ebyetaagisa okugolola ebibuuzo bino, byakolebwa mu bifo 556 okwetooloola eggwanga lyonna, naye mu mutendera guno ogwa; Uganda Polytechnics and Advanced Crafts, byakolebwa mu bifo 258 ng'abayizi 5,251 be baabituula.

Ku bano 991 bawala ate 4,260 balenzi. Babifulumya ku ssaawa 4:00 ez'oku makya. AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu kafulumizza lipooti ekwata ku ‘Safe House' ne balumiriza minisita avunaanyizibwa ku butebenkevu Gen.

Elly Tumwine nga bwe yalemesa okunoonyereza kwabwe. Lipooti yayanjuddwa Janepher Nantume Egunyu (mukazi/Buvuma) mu lutuula lwa Palamenti eggulo ku Lwokusatu n'ategeeza nti, Tumwine yabalemesa okutuuka mu bifo eby'enjawulo ebigambibwa nti gye batulugunyiza abantu.

Wadde ng'akakiiko kaasisinkana abantu ab'enjawulo abaalumiriza akulira ekitongole ky'amagye ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO, Col. Kaka Bagyenda kyokka era Tumwine yabagambirawo nti tayinza kumukkiriza kugenda mu kakiiko.

Bwe baasisinkana Tumwine yakkiriza nti kituufu ‘safe house' weeziri, kyokka ziteekeddwa okukuumibwa nga za kyama. POLIISI ERANGIRIDDE EBIKWEKWETO KU BIDDUKA EBYAVA MU BYEMIKONO BIFULUMIZIBWA NKYA LIPOOTI KU SAFE HOUSE EFULUMIZIDDWA Omwana LDU gwe yakuba essasi atabudde abazadde Trump, Pence (emabega ku kkono) ne Nancy ng'ayuza empapula.

Bya JALIAT NAMUWAYA ABAZADDE b'omwana LDU gwe yakuba essasi ku mutwe e Kyebando basobeddwa. Bagamba nti beekubidde enduulu eri aboobuyinza kyokka ne batayambibwa. Omwana ye Caroline Leni 9, asoma mu P4.

Amasasi gaakwata ne muganda we ow'emyaka esatu ayitibwa Emmanuela Letaasi. Kitaabwe Joel ow'e Kyebando mu Kisalosalo mu Munisipaali y'e Kawempe attottola bwati Engeri gye baakubamu abaana be amasasi; Nga December 31, 2019 natwala ffamire yange ku Eklezia Yezu Kabaka okusoma Mmisa eyaniriza omwaka 2010. Mmisa bwe yaggwa ne tweyongrayo ku Watoto ku Buganda Road.

Essaawa bwe zaawera 6:00 mu ttumbi ebiriroliro ebyaniriza omwaka byatulika. Bwe twamala okwaniriza omwaka, ne nvuga emmotoka okudda eka e Kyebando. Twali mu mmotoka ne mukyala wange n'abaana, ffenna twali musanvu mu mmotoka.

Bwe twava e Mulago ku Mawanda Road nga tukkirira okugenda e Kyebando, olwo amasasi ne gavuga. Waayita obutikitiki butono, abaana abaali mu mutto emabega ne batandika okukaaba.

Ssaayimirira nnavuga butereevu ne nnyingira eka mu kikomera. Abaana baali bakaaba nnyo. Baali balaajana nga bali mu kitaba ky'omusaayi.

Nabaddusa mu kalwaliro ku muliraano ne babawa obujjanjabi obusooka ne batwongerayo e Mulago. Nga tutuuse e Mulago, twasindikibwa e Nakasero okukuba abaana ebifaananyi ebyazuula nga Leni lyamukubye ne limukosa ekiwanga.

Nja January 6, omwana yalongoosebwa e Mulago n'aggyibwamu obupapajjo bw'ekisosonkole ky'essasi n'obuganga bw'essasi.

Omwana omulala Emmanuela, essasi lyamukosa ku mutwe kyokka ye yatereeramu. Kyokka omwogezi w'ekibinja ekivunaanyizibwa ku ba LDU, Maj. Yusuf Katamba yategeezezza nti essasi eryakuba omwana lyamuyita ku kyenyi era teryamukosa kiwanga.

ENGERI GYE BAABAKUBA Katamba agamba nti mu kiro kya December 31, baafuna amawulire ng'ababbi be bayita "Abeekigaali" abaali mu kibinja ky'abantu 40 baali basazeeko Mawanda Road nga banyaga abantu.

Aba LDU baasindikibwa mu kitundu era mu kulwanyisa ababbi baakuba amasasi agattirawo omubbi omu ate omulala ne bamukuba omukono n'addukira mu kkanisa y'abalokole eriraanyewo mwe yeekukuma, kyokka ne bamuggyayo.

Amasasi we gaavugira, emmotoka ya Joel yali eyitawo olwo essasi ne likosa omwana ku kyenyi. N'agamba nti tebamanyi bya ssasi kuyingira mu kiwanga kya mwana. Wadde omuntu omulala agambibwa nti amasasi gaamuyiwa ebyenda.

Abazadde b'omwana bagamba nti basasaanyizza ssente okumujjanjaba kyokka akyali bubi. Beemulugunya olwa Gavumenti obutabayamba.

Ensonga baazitwala ku poliisi e Wandegeya kyokka tebannayambibwa. Waliwo aba LDU abaakwatibwa kyokka baayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

Basabye akulira poliisi ne Pulezidenti okubayamba kubanga emmundu eyakuba abaana baabwe ya Gavumenti. Amasasi gano gaakwatiramu Roland Agaba 29, eyali ava okusaba ewa Nabbi Kakande e Mulago ku Bbiri.

Yali atambula adda wuwe e Kyebando. Amasasi gaamukuba olubuto, ebyenda ne bivaayo n'atwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya. Kati abeera wa muganda we e Kyebando mu Kisalosalo zooni.

Afulumira kiveera kyokka yeetaaga ebiveera bisatu (3) olunaku.

Buli kiveera kigula 40,000/-. Awanjagidde abantu b'ekisa okumuyamba.

Kitaabwe Joel Ono yakosebwa ekiwanga Sipiika ayulizza Trump empapula mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...