TOP

Beekalakaasizza lwa lutindo olwabomose

Added 6th February 2020

OMUGGA ogusomosa abasuubuzi n'abalunzi be Ggolo gubomose abatuuze ne bavumirira ekitongole kya UNRA okukola gadibengalye.

Abatuuze b'omuluka gw'e Ggolo mu gombolola y'e Nkozi mu Mpgi beekalakasizza lwa luguudo lwabwe oluva eKatonga okudda eGgolo ku mwalo okubotoka nga tebakyalina webayisa byamaguzi byabwe.

Abatuuze okwekalakaasa kiddiridde omugga Lukku ogugatta Kayabwe ku Ggolo okubotoka amazzi nebasalako oluguudo luno olubadde lwakakolebwa ekitongole kye nguudo ekya UNRA kyebalumiriza nti kyakoze gaddibe ngalye.

Bano  nga bakulembeddwamu kansala womuluka guno Gerald Kasozi basimbye ebitoolo mu mugga guno nokusuulamu ebiyinja ebinene nga balaga obutali bumativu ku kitongole kya UNRA kyebagamba nti kyakamala okukola oluguudo luno kyokka nebatatekawo bigoma bimala kutambuza mazzi ekigaviriddeko okwanjaala negasalako oluguudo.

Bategezezza nti oluguudo lubafiirizza okutambuza emaali yaabwe okuli ebyenyanja nemagi genkoko kubanga emirimu gybawe mwebajja ssente gyakulunda nokuvuba.

Kasozi agambye nti bagezezaako okwekolera omugga guno okusobola okutaasa emaali yaabwe kyokka kyetagisa bakugu kubanga amazzi gava mu kitoogo nga nenkuba nebweba tetonnye ganjaala oluguudo lwonna nebatya okuyitawo olwo emaali yaabwe neefa nemirimu emirala okusanyalala.

Basabye akulira ekitongole kya UNRA Allen Kagina okulondoola emirimu egikolebwa abakozi be abawansi kubanga bamala gekolera okukakkana nga bafiirizza gavumenti obulindo bwensimbi nokukivumaganya.

Ssentebe wa disitulikiti ye Mpigi Peter Clever Mutuluza asabye ekitongole kya UNRA okusindika ba yinginiya abakugu okulaba ngabatereeza omugga guno okusobola okutaasa abatuuze nebyenfuna bya disitulikiti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...