TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkolagana ya Sheebah ne Jeff Kiwa eri mu lusuubo

Enkolagana ya Sheebah ne Jeff Kiwa eri mu lusuubo

Added 7th February 2020

AGAVA mu kibiina kya ‘Team no sleep’ galaga nti omuyimbi Sheebah Karungi ne maneja we, Jeff Kiwanuka bafunye obutakkaanya era bwe watabaawo kikolebwa mu bwangu bayinza okwawukana.

 Sheebah lwe yayingira ennyumba ye esangibwa e Munyonyo.

Sheebah lwe yayingira ennyumba ye esangibwa e Munyonyo.

AGAVA mu kibiina kya ‘Team no sleep' galaga nti omuyimbi Sheebah Karungi ne maneja we, Jeff Kiwanuka bafunye obutakkaanya era bwe watabaawo kikolebwa mu bwangu bayinza okwawukana.

Wadde ensonga entuufu etabula ababiri bano abaludde nga bakolagana tennamanyika, ababali okumpi balina ensonga ez'enjawulo ze boogerako eziyinza okuba nga ze zivaako obuzibu.

Abamu bagamba nti entabwe yandiba ng'eva ku ddiiru ensava eya paadi Sheebah gye yakutudde n'omugagga Omusudani ng'ayita mu kkampuni ye eya Sheebah Establishment Ltd. gye yaakatandikawo.

Mu ddiiru eno bagenda kukola paadi eziyitibwa ‘holic' okuva mu linnya ly'ekibiina ky'abawagizi ba Sheebah ekya ‘Sheebah holics 4 life' n'ekigendererwa ky'okuzitumbula n'okufuna akatale era Sheebah agenda kukwata omusimbi oguwerako.

Abamanyi Jeff n'engeri gy'akwatamu abayimbi b'azze akola nabo okuli ne Sheebah, okwawukanako ne bamaneja abalala, ddiiru yonna egenda ow'omuyimbi we erina kuyita mu ye era ateekwa okugimanyaako n'okusalawo kubanga y'avunaanyizibwa ku bayimbi be era afuna omugabo ku buli bizinensi gye bakola.

Kyokka kigambibwa nti mu ddiiru eno, Sheebah yagyekoleddeko butereevu era agirimu ne mugandawe Mariam ekiyinza okuba nga tekyasanyudde Jeff wadde nga kino we kijjidde ng'era waliwo okwerumaaluma okutonotono.

Pulojekiti ya paadi eno Sheebah yali ateeseteese okugyanjula n'okugitongoza wiiki bbiri emabega kyokka enteekateeka zino n'aziyimirizaamu ssaako n'ez'okufulumya oluyimba lwe olupya era kigambibwa bino yabikoze basooke bamale okwetereeza.

Abalala bagamba okufaananako n'abayimbi ba Goodlyfe, Sheebah atandise okufuna ekirowoozo nti bandiba nga bamunyunyuunta ate ng'akola ssente nnyingi (Sheebah y'omu ku bayimbi abasinga okupangisibwa ssente ennyingi mu ggwanga ku mikolo n'ebivvulu) era nti azze awulira ng'ayogera ku nsonga eno ekiyinza okuba nga kyamuviriddeko okuzimba omutima ng'enjogera y'ennaku zino.

Ye Jeff bwe yabuuziddwa ku nsonga eno n'ekituufu ekiyinza okuba nga kye kibatabula talina bingi bye yayogedde ng'agamba nti talina budde bwa nsonga zitalina makulu. Yagambye nti ebyogerwa bigambo bya bantu ebitaliiko mutwe na magulu era tamanyi kigendererwa ky'abo ababitambuza.

Mu birala ebyogerwa mulimu ggoloofa ya Sheebah gye yayingira omwaka oguwedde e Munyonyo egambibwa okuba nti eriko ebbanja eribatabudde ate abalala bagamba waliwo ddiiru Jeff gy'ateekateeka okukutula Sheebah okuyimba mu biseera bya kampeyini kyokka ye Sheebah ng'omuyimbi si mumativu ne ssente ze baagala afuneko. Wabula Diriisa Bukenya nga ye maneja Sheebah gw'atambula naye ku mikolo n'ebivvulu bino yabisambaze n'agamba nti ennyumba ya Sheebah tebanjibwako wadde ekikumi.

Ku kya paadi yagambye eno bizinensi ya Sheebah amaze emyaka ebiri ng'agiteekateeka ate ku ky'okuyimba mu kampeyini yagambye nti bbo tebayimba wadde okwetaba mu byobufuzi.

Kyokka waliwo n'abagamba nti embeera eno ey'okusika omuguwa wakati w'omuyimbi ne maneja yandiba empange eteekeddwaawo aba ‘Team no sleep' ng'abayimbi abalala bwe batera okukola n'ekigendererwa ky'okukolera omuyimbi amawulire n'erinnya okusigala mu bantu naddala mu kiseera kino nga ffoomu ya Sheebah esseemu.

Ku nsonga eno Bukenya yagambye nti eyo si nkola yaabwe, waaka w'omuyimbi waabwe

yeeyongera akyali wamaanyi era ebintu ng'ebyo tebayinza na kubirowoozako naye ne yeegata ku mukama we Jeff okwebuuza ekigendererwa ky'abatambuza ebigambo. Sheebah yeegatta ku Jeff Kiwa mu 2014 era okuva olwo taddanga mabega.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...