TOP

Engeri People Power gy'etabudde DP

Added 8th February 2020

OLUKIIKO Nobert Mao lwe yatuuzizza okumalawo obutakkaanya mu bakulira DP, abamu baaluvuddemu nga tebamatidde nga bagamba nti tewali kinene kyatuukiddwaako ku nsonga enkulu ezibatabula.

 Omuteesiteesi Sulaiman Kidandala Sserwadda ne Gerald Siranda buli omu agamba nti y’alina obuyinza ku kulonda kw’obukiiko bwa DP.

Omuteesiteesi Sulaiman Kidandala Sserwadda ne Gerald Siranda buli omu agamba nti y’alina obuyinza ku kulonda kw’obukiiko bwa DP.

Ekimu ku bitabudde ennyo DP y'engeri abamu ku bakulembeze abeeyongedde okuwakanya Mao nga tebamuwagira kwesimbawo ku Bwapulezidenti wa Uganda mu kalulu ka 2021.

Bano kuliko omuteesiteesi wa DP, Sulaiman Kidandala, Gonzaga Sewungu, Medard Segona, Mujwanga Kivumbi ne Mathias Mpuuga.

Bano bawagira kisinde kya People Power ekikulirwa Bobi Wine. Era Bobi Wine yabalonda ku lukiiko olukwanaganya ensonga za People Power. Kyokka wadde bali mu People Power bakyali ba DP era baagala DP ekole ne People Power basimbewo Bobi Wine.

Mao kino akiraba ng'okusaanyawo DP era ye tasobola kukwata kibiina n'akiwaayo kubanga People Power si kibiina. Ekirala tekirina mirandira kikozesa mirandira gya DP.

Abagenze mu People Power abageraageranya ku byennyanja ebigenda n'omuyaga ku lubalama olwo omuyaga bwe gufuuwa okudda ku ludda olulala ebyennyanja ne bisigala mu bbanga. "Abakola ekyo ziba mmome. Nze siri mmome", bwe yategeeza gye buvuddeko.

Ku Lwokuna, Mao yatuuzizza olukiiko ku Pope Paul Memorial Hotel e Lubaga . Lwabaddemu abakulira ebitongole okuli Ssaabawandiisi Gerald Siranda, omuteesiteesi Sulaiman Kidandala , Ssentebe wa DP, Dr. Mayambala Kiwanuka, ow'Ebyamawulire Kenneth Paul Kakande, n'ababaka okwabadde Ssewungu.

Olukiiko lwakyusiddwa okuva ku ofiisi za DP ku Balintuma e Nakulabye olw'okutya abaasoose okulaalika okulutataaganya.

Ensonga enkulu mu lukiiko kuliko; okulonda obukiiko bwa DP okuva ku byalo okutuuka ku magombolola. Baalemeddwa okukkaanya olwa foomu ebbiri ezikozesebwa okuli eyakubwa Kidanda mu bukulu bwe ng'omuteesiteesi n'endala eyafulumizibwa Ssaabawandiisi Siranda.

Foomu zombi zaasasaanyiziddwa era zikola ate nga zombie ziva mu DP. Kino kyajulidde olukiiko olulala ku Lwokubiri.

Ensonga endala ya kye baayise olulimi oluvuma olukozesebwa abakulembeze okuli NOBERT MAO ANNYONNYODDE

Mao eyayita abawagira People Power emmome. Bakkaanyizza buli muntu awe munne ekitiibwa n'okwewala olulimi olulengezza ku lw'obulungi bw'okwegatta n'okukolerra ekibiina.

Ensonga endala ey'omukago gwa "DP Block". Abamu ku bammemba tebaayitiddwa. Kuliko Dr. Abed Bwanika owa People Development Party, Michael Mabike owa Social Democratic Party ne Samuel Lubega owa Truth and Justice Forum.

Bammemba abamu baagambye nti abakulu abo obutabayita kyabadde kikyamu kubanga balina ensonga zaabwe enkulu ate nga DP yakkiriza okukolagana nabo wabula Mao n'atabawa kifo kyonna. Kino nakyo kyajulidde Lwakubiri.

Ensonga endala ya nkolagana ya DP n'ababaka ba palamenti aba DP. Ababaka baakibataddeko bwe bakola ng'abalwanyisa ekibiina nga boogerra Mao amafukuule mu bantu. Bakkiriziganyizza bakomye okuvuma era bawang'ane ekitiibwa.

Kyokka Kidandala yategeezezza Bukedde nti teyamatidde byabadde mu lukiiko kubanga terwasazeewo nsonga nkulu ey'okulonda obukiiko evuddeko lutalo mu kiibiina. N'agattako nti ensonga endala ebatabula ey'okuleka ebweru abantu nga Abed Bwanika ne Mabike nayo teyagonjoddwa.

Siranda yagambye nti enkiiko endala zijja kuyitibwa bongere okukkaanya. Kyokka n'agamba nti okulonda kujja kugenda mu maaso era awali okukoonagana oba obutakkaanya obwo buvunaanyizibwa bwa Bassentebe ba DP ku disitulikiti okugonjoola ensonga.

Kyokka yagambye nti ebiwandiiko ebyava mu ofiisi ye eya Ssaabawandiisi bye bituufu okukozesa kubanga "kwe kuli omukono gwange nga Ssaabawandiisi."

Kyokka Kidandala yakalambidde nti obuvunaanyizibwa y'abulina ng'omuteesiteesi okusinziira ku konsitityusoni.

N'agamba tebayinza kuwaayo DP mu People Power kubanga ekibiina kituuse ku bintu bingi ebikiyambye okwenyweza era kirina obusobozi okukulembera eggwanga. Yajjukizza bwe baaguze ekizimbe kya bukadde 650 e Nakulabye, baagula ekyapa ekikuba ebipande n'ebiwandiiko.

Ne yebuuza: People Power banneffe gye balaga erina ki?

OLUTALO;

DP yatabulwa okufa kwa ssaabawandiisi Mathias Nsubuga, omuwanika Hajj Issa Kikungwe, Suzan Namaganda [obubaka omukyala owa Bukomansimbi] ate Ssentebe w'ekibiina Mohamed Kezaala ne yeegatta ku NRM.

Ebifo ebyo tebijjuzibwanga. Olukiiko olwali luyitiddwa mu December 2019, okujjuza ebifo ebyo, bwe lwatuuka ku nsonga eyo akola nga Ssntebe Dr. Mayambala n'ayimiriza okulonda.

Abawakanya Mao beesiba ku nsonga eno nti evuddeko okutta ekibiina kubanga Mao tayagala kulonda. Mao agamba nti abawagira okulonda baagala kussa bantu baabwe mu bifo ebyo, bakozese DP ensobi okutwala ekibiina mu People Power.

Kyokka abawakanya Mao bakimuteekako nti akozesa obutalonda yeenyweze era akozese omuwaatwa ogwo okwesimbawo ku bukulembeze bw'eggwanga.

HENRY SSEWANYANA;

Omu ku bantu abakulu mu DP, Sewanyana yagambye nti DP kibiina ky'amaanyi nnyo. Naye abakulembeze baakyo beeyagaliza bokka. Oli ne bw'aba tasobola waakiri alemesa abalina obusobozi. Kino kiwadde omukisa abaagala okutabula DP okutuukiriza ebigendeererwa byabwe.

Omutunuulizi w'ebyobufuzi Yisirayiri Mayengo yagambye nti ebitabula DP byatandika mu 1980. Konsitityusoni ya DP ekkiriza Pulezidenti w'ekibiina yekka okwesimbawo okufuga eggwanga ne kiremesa abalala abalina obusobozi n'ettutumu okuvaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...