TOP

Museveni ayagala Afrika ekole eggye eryawamu

Added 9th February 2020

PULEZIDENTI Museveni asinzidde mu lukiiko lw’ekibiina ekigatta amawanga ga Afrika (AU) oluli ku mulamwa gw’okukomya entalo ku ssemazinga ono n’asaba wassibwewo eggye erya wamu erisobola okwang’anga olutalo lwonna olubalukawo mu Africa.

Museveni yagambye nti Afrika esobola okwekolera ku bizibu byayo byonna n'ategeeza nti okussibwawo kw'eggye erya wamu erisobola okukuuma Afrika kijja kuyamba olukalu luno okwerwanako singa wabaawo olutalo olubaluseewo.

Okusinziira ku mukutu gwe ogwa Twitter, Pulezidenti bino yabyogedde  akubiriza olukiiko olukwata ku bwangu Afrika bw'esobola okukozesa okwerwanako singa wabaawo ekiguddewo.

Olukung'ana lw'amawanga ga Afrika ageegatira mu kibiina kya African Union luyindira mu kibuga Adis Ababa ekya Ethiopia ku mulamwa gw'okusirisa emmundu (okumalawo entalo) ku lukalu luno.

Amawanga gano gaayisa ekiteeso ky'okumalawo entalo zonna ku lukalu luno omwaka  2020 wegunagweerako kyokka abatunuulizi bagamba nti ekirooto kino kiyinza okuba ekizibu okutuukiriza ku entalo kuba zikyayinda e Libya, Somalia, South Sudan, Western Sahara n'ewalala.

Nga tanayingira mu lukiiko Pulezidenti yayitidde ku meeza okwabadde ekitabo ky'okukungubagira eyali Pulezidenti wa Kenya , Daniel arap Moi  n'assa omukono mu kitabo kino ng'akubagiza Kenya n'abatuuze baayo olw'okuvibwako omuntu gwe yayogeddeko ng'omuntu abadde n'omutima gw'obwa sseruganda bw'Omufirika.     

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...