TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannarotary basabye Gavumenti ekole ennongosereza mu tteeka ly'okujjanjaba kookolo

Bannarotary basabye Gavumenti ekole ennongosereza mu tteeka ly'okujjanjaba kookolo

Added 10th February 2020

Bannarotary basabye Gavumenti ekole ennongosereza mu tteeka ly'okujjanjaba kookolo

 Bannarotary nga bannyonnyola

Bannarotary nga bannyonnyola

Bya Joseph Zziwa

EKIBIINA ekirwanirira abalwadde ba Kookolo mu Uganda ekya "Uganda Cancer Society" nga bali wamu ne banna Rotary basabye Gaavumenti okuteekawo enkola eyetongodde ku kulwanyisa ekirwadde kya Kookolo nga bweguli ku siriimu.

Bino byabaddewo ku lw'okubiri ku woteeri ya Africana bwe baabadde bakuza olunaku lwa Kookolo munsi yonna nga omugenyi omukulu yabadde Paul Ebusu akulira Uganda Cancer Society.

Omukolo gwetabidwako banna Rotary okuva mu kiraabu 78 okwabadde Kampala,Lubaga,Kololo,Kisaasi n'endala nga omulamwa gwabadde "Iam and I Will" ekitegeeza nti bw'oba obadde olina ky'okola okulwanyisa ku bulwadde buno era gendera ddala mu maaso.

Ebusu yategeezezza nti kati Kookolo mu nsi yonna akwata kyakubiri mu ndwadde zinnamutta era mu Uganda ow'omumwa gwa nabaana yegiriisa kyokka bekikwatako tebakoze kimala.

Ono yebazizza Rotary Uganda ku mulimo omunene gwekola mu kulwanyisa obulwadde buno nga eyita mu "Rotary Cancer Run" mwebasondera ssente eziyamba ku bujjanjbai kwossa ne Gavumenti naddala ku kyuma kya Kookolo ku dwaliro lya  Mulago kyokka n'ategeeza nti ekyuuma kyokka tekimala nga abantu tebamanyi nabiki bivaako bulwadde buno songa n'abamu tebasobola kuggyangu mu Kampala kufuna bujjanjabi nga bwebaddayo olw'entambula kw'otadde n'obujjanjabi obw'obusere ekibaviirako okubyesonyiwa.

Ebusu agamba Gavumenti erina okuteekawo enkola gyeyayise"National Cancer Control Policy"era wassibwewo n'omutemwa mu mbalira y'egwanga gwongera okutumbula ku bujjanjabi kwossa n'okumanyisa abantu ku bulwadde buno naddala mu byalo kuba bangi tebamanyi nti Kookolo asobola n'okuwona ssinga azuulwa nga bukyali nabiki byebalina okwewala,era enkola eno ebeere nga yerungamya n'ebitongole nga Rotary ebivaayo okuyambako kuba abafera baggya kutandika okwerimbika mu kifaananyi kino bategekenga nga ebintu songa ssente bazizza ku mimwa.

Ye Bonny Nsambu nga ye Pulezidenti wa Kiraabu ya Rotary eye Kololo,yebazizza banna Uganda bonna ababakwatizzaako mu kulwanyisa obulwadde buno kuviira ddala mu 2012 webatandikira Pulojekiti ya Rotary Cancer Run,ono kino kyabasobozesa okuzimba ekifo awajjanjabirwa abalwadde ba Kookolo ku dwaliro e Nsambya ekyawementa akawumbi 1.5sh.Yabasabye banna Uganda okufaayo okwekebeza,obutamalamu balwadde maanyi kuba bangi abasobodde okuwona n'okujjumbira emisinde gy'omwaka guno nga August 30 ku Kisaawe e Kololo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...