TOP

Bbaasi ekutte omuliro 60 ne basimattuka okufa

Added 11th February 2020

Bbaasi ekutte omuliro 60 ne basimattuka okufa

 Bus ng'ekutte omuliro

Bus ng'ekutte omuliro

ABASAABAZE 60 basimattuse okufiira mu bus ye Rwanda ekutte omuliro ku lwe Masaka ebintu byabwe byonna ne bisaanawo.

Bbaasi ya kampuni ya Trinity Express ebadde ekubyeko abasaabaze ne maali yaabwe ng'eva e Rwanda nga eyolekera e kampala ekutte omuliro neyaka n'esaanawo abasaabaze ne basigala nga tebalina kintu kyona.

Bus eno namba RAD 644G okukwata omuliro kiddiridde okuyimirira ku Check Point e Buwama poliisi wewandiikira baasi eziyita ku luguudo luno  ku saawa nga 12 ez'okumakya kyokka dereeva olubadde okuvaamu n'ekwata omuliro olwo abasaabaze ne babuna emiwabo.

Okusinziira ku basaabaze ababadde mu bus eno bategeezezza nti basoose kulaba mukka nga gubuutikidde bus yonna ne batya ne bagiddukamu kyokka babadde bakavaamu ne bwatuka omulundi gumu n'ekwata omuliro ogw'amaanyi.

Poliisi ye Buwama ezikiriza omuliro egezezzaako okuzikiza bus eno ne lemererwa olw'omuliro ogw'amaanyi era n'etera n'efuuka muyonga n'ebintu by'abasaabaze byonna ne bisaanawo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...