TOP

Abatuuze bakubaganye n'abalokole lwa kkubo

Added 11th February 2020

ABATUUZE n’abalokole mu kkanisa ya Bible Gospel Church Kampala bagwahhanye mu malaka wakati mu lukiiko olwayitiddwa poliisi okubatabaganya.

 Omuserikale (owookubiri ku kkono) ng’adduka okutaasa omugoberezi w’ekkanisa eyabadde agajambulwa.

Omuserikale (owookubiri ku kkono) ng’adduka okutaasa omugoberezi w’ekkanisa eyabadde agajambulwa.

ABATUUZE n'abalokole mu kkanisa ya Bible Gospel Church Kampala bagwahhanye mu malaka wakati mu lukiiko olwayitiddwa poliisi okubatabaganya.

Wakati mu kavuvuhhano kano, poliisi yawaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Abatuuze mu Nabukalu zzooni mu muluka gwa Bwaise II e Kawempe, balumiriza abatwala ekkanisa eno okubazibira ekkubo lye babadde bakozesa okutuuka mu maka gaabwe, okugenda ku luzzi ne mu ddwaaliro e Kawempe gye bafunira obujjanjabi.

Olukiiko lwabadde lukubirizibwa David Mwebaze omukwanaganya wa poliisi n'omuntu waabulijo mu Kampala n'emiriraano.

Abatuuze bagamba nti okuva mu 2015, ab'ekkanisa lwe baasenga mu kitundu kino, ekkubo lyazibwa.

Henry Kkungu ssentebe w'ekitundu ,yagambye nti bamaze ebbanga nga beegayirira ab'ekkanisa okubaggulirawo ekkubo ne beerema. "Tuzze tulwanagana n'abagoberezi b'ekkanisa ng'omulundi ogusembyeyo baatulumba ne batukolako effujjo ne batukuba kyokka ekikwasa ennaku, ate poliisi yasibamu batuuze.

Nze bankuba ne nfuna obukosefu ku mutwe, ne mbaggulako omusango ku poliisi y'e Kawempe ku fayiro SD:REF: 59/02/02/2020."

Ate Twaha Kafeero omutuuze yagambye nti, "nze bansanga ntereeza oluguudo ne bankuba n'oluvannyuma ne banteekako ogw'okusaalimbira ewaabwe ku fayiro nnamba SD:REF:73/01/02/2020.

Bammenya engalo n'okutuusa leero nnyiga biwundu. Nange nabaggulako omusango ku SD:REF: 99/01/02/2020 e Kawempe naye sinnayambibwa.

Rhodah Nsagi muwala w'omugenzi James Ssebanakitta eyaguza ab'ekkanisa ettaka, yagambye nti jjajja we (omugenzi Mulindwa) yafa tasasudde ttaka kulimalayo.

"Twalisasula nga taata tannafa n'oluvannyuma ne tuliguza ekkanisa." Kwe kusaba abatuuze okukwatagana n'ab'ekkanisa kuba mu kiseera kino ettaka be balirinako obuyinza.

Wakati mu kuteesa, abatuuze abamu we baatandikidde okukubagana n'abalokole ekyawalirizza poliisi okukozesa ku maanyi agenjawulo.

Grace Kiyaga omukadde w'ekkanisa abatuuze gye balumiriza okubazibira ekkubo yategeezezza nti, "guno omulundi gwakuna ng'abatuuze batulumba ne bamenya ggeeti n'olukomera." Mwebaze yasabye abantu b'enjuyi zombi okubeera abakkakkamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...