
Pulezidenti Museveni ng’akuba eriiso evvannyuma ku Moi.
Moi 95, eyafuga Kenya okumala emyaka 24 okuva mu 1978 okutuuka 2002, aziikibwa leero mu maka ge ag'omu kyalo ku kyalo Kabarak mu ssaza ly'e Nakuru ku mukolo ogusuubirwa okwetabwako aba famile ye, abakulembeze ab'enjawulo mu Kenya ne Afrika n'abantu abalondemu.
Eggulo ku Lwokubiri, ekisaawe ky'omupiira ekya Nyayo National Stadium mu kibuga Nairobi kyajjudde ne kibooga ebikumi n'ebikumi bya Bannakenya abeetabye ku mu mukolo omutongole ogw'eggwanga ogw'okusiibula Moi, eyali Pulezidenti wa Kenya owokubiri okuva eggwanga eryo lwe lyafuna obwetaze mu 1963.
Olunaku lw'eggulo ku Lwokubiri lwabadde lwakuwummula wonna mu Kenya Omukolo ogw'omu kisaawe ky'e Nyayo ogwaguliddwa Pulezidenti Uhuru Kenyatta gwetabiddwaako abakulembeze ab'enjawulo okuva mu mawanga aga Afrika omwabadde:
Pulezidenti Museveni, Salva Kiir owa South Sudan, Paul Kagame owa Rwanda , Sahle-Work Zewde owa Ethiopia, Ismail Guelleh owa , Djibouti, Brahim Ghali owa Sahrawi Arab Democratic Republic, Omumyuka wa Pulezidenti wa Nigeria Yemi Osinbajo, n'abaaliko abakulembeze ba Tanzania, Benjamin Mkapa ne Jakaya Mwisho Kikwete.
Abantu baabulijjo baatandise okuyingira mu kisaawe kya Nyayo ku ssaawa 1:00 eyokumakya era zaagenze okuwera 2:00 ez'oku makya nga bonna bakkalidde olw'omulambo gwa Moi gwabadde guwalulirwa ku kigaali ne guggyibwa ku Palamenti ne gutwalibwa mu kisaawe nga gukulembeddwa pikipiki za Poliisi era nga mmotoka z'amagye n'eza gavumenti omwabadde aba famire n'abakungu ba gavumenti nga zivaako emabega.
Abakulembeze b'amawanga ag'ebweru batuuse ku ssaawa 4:00 n'oluvannyuma Pulezidenti Uhuru ne mukyala we, Margaret Kenyatta ne batuuka olwo omukolo ne gutandika ku ssaawa 4:45 era gwawedde nga ziyise mu ssaawa 8:00 ez'emisana.
Pulezidenti Museveni yacamudde abakungubazi ng'ayogera ku ngeri gye yazuzumbamu ne Moi mu biseera bye ebyasooka nga yaakafuuka Pulezidenti wa Uganda era nti lumu Moi yaggalawo ensalo ng'abalabe ba Museveni bamubuulidde ebyobulimba kyokka oluvannyuma ensonga baazigonjoola.
Museveni yagambye nti Moi y'omu ku basajja ababadde ba mwoyo gwa Afrika era abaagazi b'emirembe n'amusiima olw'amaanyi ge yassaamu okuzzaawo omukago gwa East Afrika.