
BAYIZI n'abasomesa b'essomero lya Kawanda SS bali mu kwetegeka oluvannyuma lw'akakiiko akakulira emizannyo gya UMEA Solidarity games okubakakasa ku butegesi bw'empaka z'omwaka guno.

Hajji Twahir Kitezaala akulira akakiiko akaddukanya emizannyo gya UMEA egy'etabwamu amasomero agaddukanyizibwa ku musingi gw'obusiramu y'akakasizza Kawanda SS okutegeka empaka zino ku mukolo ogubadde ku ku ssomero n'ategeeza nti mu masomero amangi agasaba okutegeka empaka zino beekennenya ne balaba nga Kawanda yesinga ebisanyizo.

Empaka z'omwaka guno zigenda kutegekebwa ku mulamwa gw'okukuuma obutonde bw'ensi naddala okusimba emiti zakutandika nga April 9 olwo zikomekkerezebwe nga April 13 ng'amasomero gavuganya mu mizannyo egy'enjawulo mu bawala n'abalenzi okugyako okubaka okw'abawala bokka.
Emizannyo emirala egigenda okuvuganyizibwamu kuliko; omupiira, basketball, handball, basket ball, tena w'okumeeza, badminton n'emirala era ng'amasomero agawera 45 ge gasuubirwa okwetaba mu mpaka z'omwaka guno okuva ku 32 agetaba mu z'omwaka oguwedde ezategekebwa Kasawo SS